Bya URN
Abantu bana bafiiridde mu kabenje ku luguudo lwa Hoima-Kaiso-Tonya mu disitulikiti ye Hoima. Akabenje kano kaaguddewo ku saawa bbiri ezakawungeezi kukyalo Bulemwa mu divizoni ya Bujumbura mu kibaga ky’e Hoima.
Abasatu ku bagenzi bategeerekese nga Mungu Jakisa Bacu, Emmanuel Odar ne Harriet nga bonna batuuze kukyalo Buhirigi mu ggombolola y’e Bombo. Owookuna abadde mwana muto abadde tanategeerekeka linnya.
Abana bano babadde batambulira ku boda boda ekika kya Bajaj UDZ 213M nga baatomedde tulakita ebadde esimbiddwa kumabbali w’oluguudo.
Omusirikale wa poliisi y’ebidduka e Hoima Canicious Mugisa agambye baatandise dda omuyiggo gwa dereeva wa tulakita eno ababuulire lwaki yagirese mu kkubo.
Omu kubeerabiddeko n’agaabwe nga akabenje kagwawo Peter Murungi, yagambye nti tulakita eno yasimbiddwa ku kkubo okuva saawa 11 ezakawungeezi.
Godfrey Ochaki, omutuuze we Buhirigi era taata wa Mungu Jakisa Bacu, omu kubaafiirdde mu kabenje yagambye nti mutabaniwe yabadde addusa mwanawe mu ddwaliro e Hoima okujjanjjabwa ngate abalala baabadde bamuwerekeddeko.
Akabenje kano wekajjidde nga tewanayitawo na sabbiiti emu nga akabenje akalala kagudde ku luguudo lwa Hoima okudda e Kampala era nga nako kaafiiramu abantu bana.