
Bya Shafic Miiro
Lwadda – Kyaddondo
Baminisita b’Obwakabaka nga bakulembeddwamu Ssaabawolereza, Owek.Christopher Bwanika, Minisita w’Obuwangwa, Amasiro n’Ebyokwerinda Owek. Anthony Wamala ne Minisita w’Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi ne Woofiisi ya Katikkiro Owek. Noah Kiyimba balambudde Obutaka bw’ekika kye Mpologoma e Lwadda mu Kyaddondo.
Bano bakyalidde Omutaka Ssebuganda Namuguzi Wilson Ndawula (Omukulu w’ekika kye Mpologoma), ne bamusaasira olw’obukosefu obumuluma.
Baminisita balambuziddwa ebimu ku bifo eby’enjawulo eby’ennono ebiri ku mutala Lwadda, ebirina akakwate ku Kika kye Mpologoma n’ebika ebirala era babategeezezza ng’ebifo ebimu mu kiseera kino tebiri mu mikono gya kika, nga mwe muli n’ebiggwa by’amasiga agamu mu kika kino.

Owek. Bwanika asinzidde wano naakubiriza ab’empologoma okukola ekisoboka okunyweza ebifo bye balinako enkizo ku mutala Lwadda naddala ebyo ebitaliiko basenze.
Minisita Bwanika wano alambuludde obuwaayiro obukwata ku ttaka ne liizi era n’asuubiza ekika okukola ekisoboka okugonjoola ensonga yaabwe basobole okwezza ettaka lyabwe.
Ye Minisita Wamala asabye abakulu mu kika ky’ EMpologoma, okufuba okussaawo empuliziganya ey’enjawulo ey’obuntubulamu enaatusobozesa okutaasa obutaka bw’ekika. Asabye ekika okussaawo omuwaatwa ogusobozesa okukkaanya mu kuteesa ku nsonga eno.
Ku lw’ekika, Owek. Kiyimba, Oweek. Prof. Kateregga Badru ne Katikkiro Kireega Kisekka Patrick, beebazizza Baminisita olw’okuwaayo obudde ne balambula Obutaka bw’ekika, kye bagambye nti kiyamba okubawa ekifaananyi ekituufu ku nsonga z’obutaka buno.

Okulambula kuno kubaddemu Abataka ab’enjawulo omu Omutaka Kayiira Gajuule Kasibante Frederick (Mbogo), Nsamba Aloysius Magandaazi (Ngabi Nsamba), Kyaddondo Mbugeeramula Atanansio (Nvuma), Ssaababiito Kibulala Sam Walugembe.
Ekika kye Mpologoma ku lwa Ssebuganda kikiikiriddwa Katikkiro w’ekika Kireega Kisekka Patrick, Ssentebe w’abayima b’ekika, Oweek. Alhajj Prof. Badru Kateregga, Abaamasiga n’abakulembeze abalala.









