Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira ekibiina ki National Economic Empowerment Dialogue (NEED), Joseph Kabuleta atabukidde abakungu ba gavumenti bagamba nti bakozesa ennaku y’abantu abali mubitundu bye Karamoja okubbirako ssente z’omuwi w’omusolo.
Kabuleta agamba nti okuviira ddala ku ntandikwa n’ensimbi ezaasabwa okugulira abantu beeno emmere ye baagamba tewaali njala era nga wano Katemba yenna weyatandikira okutuuka ku biriwo kati ku mabaati n’embuzi ebigambibwa okubbibwa.
Okwogera bino, Kabuleta abadde mu nsisinkano yabakulemebeze b’ekibiina kino okubabangula okunyikiza endowooza y’ekibiina kino mu bantu abavudde mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo ku kitebe ky’ekibiina ku Lwokusatu.
Kino kiddiridde abamu ku bakulu okuli baminisita okusongebwamu olunwe olw’okugabana ebintu okuli amabaati n’embuzi ebyalina okuweebwa abantu be Karamoja mu nteekateeka ya gavumenti okukyusa obulamu bwabwe era bino byabasuubizibwa bwebaali baggyibwako emmundu zebaali bakukulidde.
Kabuleta agamba nti ekyalina okukolebwa gavumenti kwekulekera awo okukuba abantu bano nga baagala okubatwalako ettaka olwokuzuula wano eby’obugagga era akakasa nti eby’okunoonyereza ku mabaati tebirina makulu kuba abakulu abasinga bamaze dda okukkiriza okwegabanya amabaati gano.
Ensisinkano eno egenda kumala ennaku bbiri nga beesibidde mu kibiina kyabwe kino e Nalukolongo bakubaganya ebirowoozo okunyikiza endowooza yabwe eyokubbulula ebyenfuna.