
Bya Yusuf Muwuluzi
Kalungu – Buddu
Abatuuze ku kyalo Bukulula mu ggombolola y’e Bukulula mu disitulikiti y’e Kalungu balumirizza akulira ekkomera ly’e Bukulula okulagira abasibe okubatulugunya ng’entabwe eva ku nkaayana za ttaka.
Atwala ekkomero lino, Sabala Steven, abatuuze gwe basonzeemu olunwe lw’okwagala okubagoba ku ttaka lyabwe. Abamu ku batuuze bagamba nti bakimanyi bulungi nti ettaka lino lya Buganda naye beewuunyiza abakulira ekkomera lino okutandika okubagobaganya nga bagamba nti beesenza ku ttaka lyabwe.
Omu ku bano, Mwanje Paul agamba nti ekibanja kino yakisikira ku kitaawe era kuliko n’ebiggya byabwe naye ab’ekkomera baamulumba ne bonoona ebintu bye.
Ono agamba nti bano bongedde ku bukyayi bwe bakozesa ng’ekikyasembyeyo kwabadde kutema mukyala we wamu n’okukuba abaana be n’okubalagira okwamuka ettaka lino.
Aba famire ya Mwanje bagamba nti ebyakoleddwa byonna byabadde ku biragiro bya O/C Sabala ne basaba gavumenti egambe ku musajja waayo.
Olwaleero Omumyuka owookubiri owa Ppookino, Abudallah Kato wamu ne GISO w’e Bukulula Nakimuli Lillian bakedde kulambula bantu bano n’okulaba obutuufu bw’ensonga eno.
GISO Nakimuli yennyamidde olw’ekikolwa ky’okuyingiza abasibe mu nkaayana zino era nga kati be bataddewo okukuuma ettaka lino, kyagamba nti kikyamu.
O/C Sabala teyeegaanye byogerwa era n’ategeeza nti tewali tteeka ly’amenye okukkiriza abasibe okukuuma ennimiro wabula ali ku mirimu gya gavumenti.
Sabala agaanye okukkaanya n’ebyokuddiza Mwanje ekibanja kye n’agamba nti bo balimira wantu awatali makoona olw’ensonga z’ebyokwerinda.
“Lino ettaka lya Bwakabaka era bano abantu bwe baba baawandisibwa baliwo mu mateeka okuggyako nga Prison etugamba nti lino ettaka lyabwe.” Ppookino Kato Abdalla bw’ategeezezza n’agamba nti ab’ekkomera lino bayitirizza ejjoogo n’okunyigiriza abantu ba Kabaka.
Ate ye Ssaabagabo Fiida Namirembe alumirizza abasirikale b’amakomera okukola ku batuuze effujjo era n’asaba wabeewo ekikolebwa ku basibe abataayaaya ku kyalo kino.









