Bya Ssemakula John
Kampala
Olukiiko oluddukanya empaka z’omupiira gw’amasaza lutegeezezza nti lulonze ebisaawe emipiira mwe gigenda okusambibwa wakati mu kwekuuma ekirwadde kya Ssennyiga Corona.
Okusinziira ku ssentebe w’olukiiko luno, Sulaiman Ssejjengo, olukalala lw’ebisaawe ebigenda okukozesebwa sizoni eno bamaze okubiweereza mu kibiina ekiddukanya omupiira mu ggwanga ekya FUFA era nga basuubira nti mu bwangu bigenda kulambulwa.
“ Ebisaawe twabironze nga tutunuulira ebyo ebizimbe ebisobola okubeera nti tetukozesa maanyi mangi okuziyiza abawagizi obutayingira mu bisaawe,” Ssejjengo bw’agambye.
Ono agasseeko nti ekirala kye baataddeko essira by’ebitundu ebirina ebisulo ebiriraanye ekisaawe okulaba ng’abazannyi bakuumirwa mu bifo eby’okumpi okusobola okubatangira ekirwadde kino.
Ssejjengo annyonnyodde nga bwe bafuddeyo ennyo ku by’okwerinda n’obujjanjabi nga balonze ebisaawe ebiriraanye amalwaliro amanene we basobola okuggya obujjanjabi obwamangu nga waliwo ekyetaagisizza.
Ono agambye nti kati balinze FUFA okukakasa ebisaawe bino n’oluvannyuma bateese n’abakulembera ttiimu wansi mu Masaza babawe amagezi ku ngeri gye banaasengeka ebibinja eby’enjawulo.
Empaka z’amasaza ze zimu ku mpaka ezisinga obuganzi era ezisinga okubeerako abawagizi naye olw’ekirwadde kya COVID-19 abategesi babadde bakyanoonya engeri gye giyinza okuzannyibwamu nga temuli bantu bangi.
Kati ekirindiriddwa lwe lukalala lw’ebisaawe olugenda okufulumizibwa oluvannyuma lw’okukakasibwa ekibiina kya FUFA.