
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange – Mmengo
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule akubirizza abantu ba Beene okutwala eby’obulamu ng’ekikulu kubanga Omutanda ayagala abantu be nga balamu.
Obubaka buno Mugumbule abuwadde atikkula Oluwalo okuva mu Ggombolola ezikiise embuga nga zino kuliko; Mutuba 1 Lugusuulu e Mawogola, Ssabawaali Kalagala mu Bulemeezi, Mutuba X Ssemuto ne Mutuba 14 Kabula mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Owek. Mugumbule agamba nti Beene ayagala nnyo abantu bakulembera okubeera abalamu era y’ensonga lwaki eby’obulamu bitunuuliddwa nnyo mu Bwakabaka naabasaba bulijjo okwekebeza endwadde n’okufuna obujjanjabi obutuufu.
Sipiika Mugumbule bano abeebazizza olw’okuwulira ekiragiro kya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka nebaddamu okulima emmwaanyi okweggya mu bwavu naye abakuutidde ssente zebafuna baleme kuzimalira mu mwenge.
Oweek Mugumbule bano talemye kubajukiza misinde gya Ssaabasajja eginaddukibwa nga 6/04/2025 naabasaba okugula emijozi nga basigala ku mulamwa gwa Beene ogwokuba abalamu nga begemesa wamu n’okwejjanjjaba eddwadde.

Minisita wa Gavumenti ez’ Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki abategeezezza nti amaanyi gebanateeka mu mirimu egikolebwa mu Bwakabaka gegajja okuzza Buganda ku ntikko buli muntu kyayaayanira.
Asabye abamaggombolola baleme kuddirira mu mpereza y’emirimu naddala egyo egy’ embuga nga balafubana okugyetabamu naddala egyo egirabibwako nga okwetaba mu misinde gya mazalibwa ga Kabaka.
Mukwenda Doe Kagimu yeebaziza nnyo nnyini nsi olw’okusiima nabatwalira olusiisira lweby’obulamu olwali mu Ssingo gyebuvuddeko nga abantu be bonna bajjanjjabwa.
Kulwa baami ba maggombolola Omuky. Nantume Hamida nga yatwala ggombolola Mut. I Lugusuulu asabye Katikkiro akome ku baami naddala abo abalimi be mmwanyi abagufudde omugano okumywa omwenge mu ssente zebaba bafunye mu kutunda emmwayi kuba bafuna mpititivu olwo nebalema okola ebibatwala mu maaso.
Amagombolola agakiise Embuga gonna wamu galeese oluwalo lwa nsimbi ezisobye mu bukadde 23 okuyimirizzaawo emirimu gya Nnyinimu.