
Bya Shafic Miiro
Kiboga – Ssingo
Omwami wa Kabaka atwaala essaza lye North California ne Nevada, Owek. Patrick Nalikka Ssendegeya alambudde Nayikondo ezazimbibwa abantu ba Kabaka aba Rotary Club of Antioch mu North California ne Nevada nga bayita mukitongole ki BUCADEF naba Wells of Life okulaba embeera mweziri.
Ku zino kuliko esangibwa ku ssomero lya Kikooba Infant and Primary School erisangibwa mu Ggombolola ye Bukomero Mutuba III ku kyalo Kikooba e Kiboga mu ssaza lye Ssingo awamu n’endala.
Owek. Nalikka asinzidde wano nagamba nti baagala okuddukirira ekiragiro kya Kabaka eky’okutumbula eby’obulamu n’embeera z’abantu be nga bafuna amazzi amayonjo.
Ono annyonnyodde nti obwetaavu bukyaliwo naddala mu byenjigiriza okusobola okukyuusa embeera z’abantu n’okuzza Buganda ku ntikko era wano wawereddeyo Sikaala z’abayizi za ddoola z’ Amerika lukumi (1000) ziyambeko abayizi mu kusoma kwabwe.
Ye Ssenkulu wa BUCADEF, Omuk. Robert Mugumu Musenze ategezeeza ebimu ku biteekeddwako essira mwemuli okutumbula eby’enjigiriza, eby’obulamu naddala okusembereza abantu amazzi amayonjo agasimibwa kkampuni ya Wells of Life.
Wano Mukwenda David Nantajja alaze obweraliikirivu olw’ekizibu ky’amazzi ekiri mukitundu kye Kiboga ne Kyankwanzi bwatyo neeyebaza Ssaabasajja olw’omukisa gwabawadde nga kati baweza Nayikondo ezisoba mu 350 mu ssaza lino.
Bbo abatuuze mu kitundu kino balaze essanyu olw’obuyambi buno nebakakasa nti kino kyakukendeeza ku kugabana amazzi n’ensolo era ziyambe okwetangira endwadde.









