
Bya Ssemakula John
Kasana – Luweero
Olukiiko olutegese Omwoleso gw’Obulimi n’Obwegassi mu Buganda balambudde ekisaawe kye Kasana mu Bulemeezi awagenda okuyindira omwoleso guno wansi w’omulamwa ogugamba nti, “Ebyobulimi n’Obwegassi okukyuusa obulamu bw’ Abantu.”
Bano nga bakulembeddwamu Omwami wa Kabaka akulembera essaza Bulemeezi, Kkangaawo Ronald Mulondo bategeezezza nti baagadde okulaba nti buli kimu kiri mu mbeera eggwanidde okusobozesa omwoleso guno okutambula obulungi.
Omwoleso guno gugenda kubaawo okuva nga 13 June, 2024 okutuuka nga 16 June, 2024 okwongera okubangula abantu ku bulimi, ebikozesebwa n’engeri gyebasobola okugatta omutindo kwebyo byebafulumya okuva mu bulimi

Kkangaawo Mulondo asinzidde wano nakowoola abalemeezi n’abantu ba Buganda okuva mu bitundu ebyenjawulo okweyuna omukisa guno nga boolesa n’okwenyigira mu nteekateeka eno basobole okumanya bwebasobola okukyuusa obulamu bwabwe nga bayita mu kulima n’okulunda awamu n’okukolera awamu.
Ono era asabye abakola bizineensi ez’enjawulo okukozesa omukisa guno basobole okumanyisa abantu ku bizineensi zabwe.