Bya Francis Ndugwa
Kyaggwe
Abakungu ba Buganda enkya ya leero ku Lwokuna balambudde ettaka ewagenda okuzimbibwa eddwaliro lya Buganda okusobola okutuusa obujjanjabi obw’omulembe ku bantu ba Ssaabasajja Kabaka ate mu bwangu.
Bano ababadde bakulembeddwamu Ssentebe wa Buganda Twezimba, Omuk. John Fred Kiyimba Freeman balambudde ettaka mu Ggombolola za mutuba etaano okuli; Nakisunga, Ngogwe ne Nyenga mu ssaza ly’e Kyaggwe mu distulikiti y’e Buikwe, okwekenneenya ekifo Obwakabaka we buba buzimba eddwaliro eriri ku mutendera gwa Health Centre IV.
Omuk. Kiyimba ategeezezza nti, “Beene yasiimye amasaza asatu gazimbibwemu eddwaliro limu limu era ekituleese kwe kulaba kifo kya ekisaanidde, obwetaavu buli luddawa? Tutumiddwa Kabineeti y’Obwakbaka bwa Buganda okujja okulaba ebifo bino.”
Ono ategeezezza nti abantu ba Buganda ebbanga lyonna babadde basaba eddwaliro kuba obwetaavu webuli n’obulumi kale nga kye baliko kwekukola alipoota naye n’asaba abantu okumanya nti omulimu guno gutandise era basuubira enteekateeka eno okubuna amasaza gonna.
Omuk. Kiyimba abasabye okumanya nti ekigambo ky’obulamu kikulu nnyo era Omutanda yasazeewo okugisoosowoza okusobola okukuuma abantu be nga balamu.
Omwami wa Ssaabasajja Kabaka ow’eggombolola y’e Nyenga Mutuba etaano, Benson Ssenyonga ategeezezza abakungu ba Beene nti wakyaliwo ekizibu ky’ekibbattaka mu ggombolola ye era ayagala kirwanyisibwe mu bwangu nga Buganda ekolera ku ttaka lino.
Ye alamulirako Beene essaza Kyaggwe Ssekiboobo Boogere Lubanga Mulembya agambye nti eddwaliro lino lyakufaayo nnyo okutumbula ebyobulamu by’abantu ba Kabaka ate nga tebakulembezza nsimbi.
Kinajjukirwa nti emirundi mingi Ssaabasajja Kabaka azze akubiriza abantu be okwekuuma nga balamu bulungi, nga bettanira abakugu mu byobulamu ng’obudde bukyali okwewala okufiirwa obulamu.
Obwakabaka era bwabakana n’eddimu ery’okubunyisa obujjanjabi mu bantu nga butegeka ensiisira z’ebyobulamu okugaba obujjanjabi obw’obwereere era enkola yaagugenda mu maaso mu masaza gonna aga Buganda.