
Bya Paul Kato
Kalungu – Buddu
Abakulembeze b’eggombolola ya Ssabasajja Mituba 2 Bululula balabudde abantu abakaayanira ettaka ewali Olubiri lwa Ssekabaka Ttonda ekimanyiddwa nga Nkulungu nga kisangibwa Ggogye -Namwanzi e Bukulula mu Buddu kuba kino kityoboola ennono n’obuwangwa bwa Buganda.
Okulabula kuno kukoledde omumyuka Omwami w’eggombolola Ssaabasajja Mituba II e Bukulula, Nsubuga Patrick bw’abadde mu lukiiko olw’okumalawo obugulumbo obuli ku kifo kino.
Nsubuga Patrick ategeezezza ng’ebintu ebikolebwa mu bifo ebyennono bwe birina okugobererwa kyokka n’alabula okwegendereza abantu abajja ng’abayambi kuba munda babeera balina ebyabwe bye beenoonyeza kyokka n’awera nti tebajja kufiirwa kifo kino nti era baakukinunula.
Bo abatuuze bano nga bakulembeddwamu Omutongole wa Kabaka, Kasekende George William balumirizza Lutaaya Kimbowa Wassajja okubagobaganya mu kifo kino n’akizimbako bbugwe w’amataffaali era n’amenya ennyumba abatuuze gye babadde bakung’aaniramu mu kifo kino ng’agamba nti ettaka lino lyonna lirye.

Abatuuze baloopedde omumyuka w’omwami w’eggombolola nga bwe basanze okusoomoozebwa olw’ebikolwa bya Wassajja nga okuva lwe yawamba ekifo kino yagaana omuntu yenna okukirinnyamu ekigere.
Amyuka Sipiika w’olukiiko lwa disitulikiti y’e Kalungu, Nsubuga Muzafaru akukkulumidde abanene mu gavumenti eyaawakati olw’okulemera mu bifo by’ennono kyokka nga bakimanyi bulungi nti ebifo bino byonna gavumenti eyaawakati yabiddiza Obwakabaka.
Wabula Lutaaya Kimbowa Wassajja agambibwa okugobaganya abantu mu kifo kino wadde mu lukiiko tabaddemu naye agamba nti yasindikibwa abatwala essaza Buddu okutereeza ekifo kino kuba kyali mu mbeera mbi ng’abamu ku batuuze bakikoleramu ebitasaana.









