Bya Musasi Waffe
Mukono
Poliisi mu disitulikiti y’e Mukono ekutte omukazi ategeerekese nga Akiteng Hellen olw’okugezaako okutunda omu ku bawala be ow’emyezi omwenda basobole okumukozesa mu byawongo awamu n’okumusadaaka.
Okusinziira ku poliisi omukyala ono bamusuubizza obukadde 2 n’ekitundu wabula n’aweebwako omutwala gumu gwokka.
“Omukazi e Mukono yatunze omwana we ow’emyezi 9 eri abasamize bamusaddaake. Ono bamusasuddeko omutwalo guno wadde babadde bateesezza bamumuweemu obukadde 2.5.” omwogezi w’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine bw’ategeezezza.
Twine annyonnyodde nti baamaze dda okukwata abantu 4 ku nsonga eno era bano bagenda kuvunaanibwa omusango gw’obutemu awamu n’okukusa abantu.
Okusinziira ku tteeka eriri mu bubage eriruubiriddwa okukendeeza ebikolwa lino, omuntu yenna anaasingisibwa omusango gw’okutta omulala ng’amukozeeko ebikolwa eby’okumusaddaaka nabo abanaasangibwa n’ebintu by’omubiri gw’omuntu nabo bakuttibwa nga gubasinze.
Mu kiseera kino, omuntu asimbibwa mu mbuga olw’ekwenyigira mu bikolwa by’okusaddaaka abantu bavunaanibwa mu ‘Penal Code Act’ ne tteeka erigaana okukusa abantu.