Bya Yusuf Muwuluzi
Masaka – Buddu
Poliisi e Masaka eriko omuvubuka gwegombyemu obwala oluvannyuma lw’okumusanga n’amasimu amabbe.
Akwatiddwa ye Mutebi David eyakazibwako erya Kigere ow’emyaka 26 nga mutuuze we Kyabakuza mu ggombolola ye Kimaanya mu Kibuga Masaka.
Abatuuze bategeezezza nti ono mubbi wa lulango era nga yali yabula okumala emyezi mukaaga era nga babadde bamunoonya, olwokumenya amayumba g’abatuuze mu kitundu kino.
Omwogezi wa poliisi mu Ttundutundu lye Masaka Muhammad Nsubuga anyonyodde nti ono waliwo omutuuze eyamulabye nekisawo ate nga akimanyi nti anoonyezebwa bwatyo natemya ku poliisi eyamukutte.
Nsubuga agamba nti ono bagenze okumwaza nga alina amasimu agawerera ddala 26 okuli aga ; Intel, Techno, amasanda gaazo awamu ne ‘Charger’ eziwerako naye nga talina biwandiiko byazo.
Mutebi eby’okubba amasimu abyegaanye nategeeza nti munne Ssentongo omutuuze we Kampala bweyagamuwa agamutundire naye nga sim abbe.
Ono mukiseera kino akuumibwa ku Poliisi gyagenda okugyibwa atwalibwe mu kkooti abitebye. Afande Nsubuga asabye abo bonna ababbibwako amasimu gaabwe okugenda ku poliisi n’obukakafu balaba oba geego.