Bya Stephen Kulubasi
Masengere – Mmengo
Abakulira abavubuka mu Buganda basanyukidde embalirira ya Buganda eyasomeddwa olunaku lw’eggulo eyalaze ng’essira bwe ligenda okuteekebwa ku kuyamba abavubuka okutandikawo emirimu n’okwegobako obwavu.
Ssentebe w’ekibiina kya Buganda Youth Council (BYC), Omuk. Baker Ssejjengo n’omukwanaganya w’emirimu gy’abavubuka mu Bwakabaka, Owek. Hassan Kiyimba, be basoose okulaga essanyu ku mbalirira eno nga bagamba nti etadde abavubuka ku mwanjo.
Bino bano babyogeredde ku Masengere olwaleero ku Lwokubiri nga boogerako ne bannamawulire.
“Embalirira eno ya bavubuka kubanga ebitongole byonna tebisobola kituukiriza bigendererwa byabyo nga tebisoosowazza bavubuka okugeza mu byenjigiriza abavubuka be bajjuddeyo, ate ne mukuweereza mu bitongole ebirala, abavubuka beetaagisa nnyo.” Owek. Kiyimba bw’agambye.
Ate ye Omuk. Baker Ssejjengo agambye nti eno y’essaawa abavubuka bakozese omukisa guno bakyuse embeera z’obulamu bwabwe nga batandikawo emirimu basobole okweggya mu bwavu.
“Essaawa y’eno okukyusa endowooza z’abantu nga tubabuulira bwe tusobola okukozesa ebitwetoolodde ne twekulaakulanya. Okugeza omuntu asobola okukozesa ettaka ne bwe liba lya kitaawe oba jjajjaawe n’alimako emmwanyi mu nkola ya Mmwanyi Terimba okukkakkana nga afunyeemu ssente.” Omuk. Ssejjengo bw’agambye.
Bano era basabye abavubuka okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka bwa Buganda, zonna bakyuse obulamu bwabwe kuba Obwakabaka bugenda kukwasizaako abavubuka abali mu bulimi nga bubanoonyeza akatale.
Owek. Kiyimba era awadde abavubuka amagezi bulijjo okubeera n’ebiruubirirwa ebisoboka bwebaba baagala okugenda mu maaso era beewale okuyingiza eby’obufuzi mu nteekateeka za gavumenti ezigendereddwamu okubayamba.
Mu mbalirira ya Buganda eyasomeddwa olunaku lw’eggulo, kyalambikiddwa nti Obwakabaka bugenda kukwatagana n’abavubuka abasukka 20000 babagulibwe ate abamu babakwatizeeko okulaba bwe basobola okwekulaakulanya nga bayita mu bibiina by’obwegassi bye bazze batandikawo.