
Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Akulira ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abakulu mu kibiina bagaaniddwa okuyingira waadi munna NUP era Omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana gyajjanjabirwa oluvannyuma lw’okuggyibwa mu ddwaliro ly’ ekkomera e Luzira nga ali bubi.
“Olwaleero tugenzeeko mu Ddwaliro e Mulago okukebera ku Hon. Allan Ssewanyana eyaweereddwa ekitanda ku Lwokutaano ngembeera ye mbi ddala. Ekyanaku Uganda Police Force etulemesezza okumulaba. Buli kimu kirabwa era luliba olwo obwenkanya bulifunibwa.”
Omubaka Ssewanyana abadde alina okulabikako mu kkooti e Masaka olunaku olwenkya ku Lwokubiri okusobola okweyimirirwa ku misango egimuvunaanibwa ne munne owa Kawempe North Muhammad Ssegirinya.
Ab’ebyokwerinda ababadde batekeddwa ku mulyango bakkirizaako munnamateeka we yekka, Erias Lukwago era ono ategeezezza nga embeera omuntu we mwali bwetasobola kumukkirizisa kulabikako mu kkooti kuba tasobola wadde okuyimirira.
Munnamateeka Lukwago annyonnyodde nti abadde alina okuwaayo ekiragiro kya kkooti kuba Ssewanyana abadde alina okutwalibwa mu kkooti e Masaka, okuwulira oba omulamuzi anakkiriza okweyimirirwa.
Lukwago agamba nti abalamuzi ababiri okuli; Tweyanze ne Victoria baali bagaana okuddamu okuwulira omusango guno kyokka akulira abalamuzi, Flavia Nzeija naalagira bagutuulemu era olunaku olwenkya omulamuzi Tweyanze lweyabawa okulaba oba Ssewanyana aneeyimirirwa.
Okusinziira ku Lukwago, alipoota y’abasawo eggyewo ekyokuba nti Ssewanyana alina obulwadde bw’omutima kyokka agamba nti bakyalina okukebera ebitundu ebirala ebyomunda kuba amawuggwe ge galabika gaanafuwa okuzuula ekituufu ekimuluma.









