Musasi waffe
Abantu babiri ababadde bakuumirwa mu kalantiini mu ddwaliro lya St Mary’s Hospiatal Lacor, mu disitulikiti y’e Gulu bafudde.
Omu abadde muvuzi wammotoka okuva e Kenya ate omu muwala nga yaggyibwa mu disitulikiti ye Oyam ng’alina obubonero obwefaanaanyirizaako obwa covid-19.
Okusinziira ku Joesphine Anying, ayogerera eddwaliro lino, bano baggyibwako omusaayi neguweerezebwa e Kampala okwekebejjebwa abakugu aba Uganda Virus Institute, kyokka nga babadde nebannafuna byavuddemu oba balina coronavirus oba nedda.
Emirambo gy’ababiri bano gikyakuumibwa mu ddwaliro okutuusa nga ekybasse kimaze okutegeerekeka.
Era singa kiba nga yabadde Covid-19 bano sibaakuweebwa bangganda zabwe wabula bajja kuziikwa aba minisitule y’ebyobulamu nga bwekyasalwawo omukelembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.