• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Baabano ababaka abatagenda kudda mu palamenti

Gambuuze by Gambuuze
November 25, 2020
in Amawulire
0 0
0
Baabano ababaka abatagenda kudda mu palamenti
0
SHARES
59
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Musasi waffe

Kampala

Ababaka 30 ku abo  457 abali mu lukiiko lw’eggwanga kyamala dda okukakasibwa nti tebagenda kudda mu Palamenti era nga kijja kubeera kizibu okubalaba nga bazzeeyo mu balonzi okubasaba akalulu mu kulonda kwa 2021.

Abamu ku bano basazeewo obutadda kwesimbawo nga beeyagalidde, abalala basazeewo obutadda oluvannyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu ne batayagala kwesimbawo ku lwabwe.

Ekitundu ku bano 30, baasooka kuwangulwa mu kamyufu k’ekibiina kya  National Resistance Movement Elections (NRM),  abalala 8 basazeewo obutaddamu kwesimbawo.

Ku bano kuliko; Minisita w’ensonga z’ebweru, Sam Kuteesa eyasimbawo muwala we Shartsi Kuteesa, Minisita Raphael Magyezi naye yasalawo obutadda ate ng’omulala ye mubaka w’ekibuga kye Mbale, Jack Wamanga Wamai.

Abalala kuliko; Florence Namayanja era nga ye mubaka wa Bukoto East ng’ono ayagala bwammeeya bwa kibuga Masaka,  Omubaka Winnifred Kiiza  eyaakegatta ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’omubaka omukyala owa Buikwe, Judith Babirye eyagenda ebweru.

Ababaka babiri ku abo abataano abakiikirira abavubuka okuli Ishma Mafabi ow’abavubuka b’e Buvanjuba ne Oscar Omony ow’abavubuka mu bukiika kkono, nabo tebagenda kudda. Ate ng’abalala basazeewo balondebwe butereevu oba bavuganye ng’abakiikirira abakyala mu disitulikiti ez’enjawulo.

Abamu ku bano bategeezezza omukutu gwa  URN  ne balaga nga bwe bagenda okukola ebyabwe naddala okwenyigira mu bbizineesi zaabwe.

Omubaka w’ekibuga Mbale, Jack Wamanga Wamai,  yategeezezza nti emivuyo mingi egiri mu kalulu n’olwekyo yasazeewo akeesonyiwe.

Yagambye nti okulwanagana okuli mu kibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) kwamutuusa ku bizibu bingi era nga  yalumbibwa olw’okuwagira okuwaayo ekibira, basobole okugaziya ekibuga Mbale.

Ate  omubaka Oscar Omony,  yagambye nti bwe yawangulwa Tonny Awany ku bubaka bwa  Nwoya, yasalawo obutavuganya ku lulwe. Yagasseeko nti agenda kwenyigira mu kulima.

Omubaka w’essaza lya Kumi, Charles Ilukor, yannyonnyodde nti akooye ebyobufuzi by’okuvuganya n’agamba nti bwe yawangula yajjukira nti yali asazeewo okumala mu palamenti ekisanja kimu era ng’agenda kwemalira ku bbizineesi ze.

Ababaka bano bagenda kusigala nga bafuna omusaala okutuusa mu mwezi gwa May, ababaka abapya lwe banaalayira.

Olukalala lw’ababaka abasazeewo obutadda 

1. Robert Kyagulanyi,  wa Kyadondo East  2.  Sam Kutesa, Mawogola North  3.   Winnie Kiiza, omubaka omukyala owa Kasese 4. Judith Babirye, omubaka omukyala owa Buikwe  5. Raphael Magyezi, Igara West MP  6. Jack Wamanga Wamai, Mbale Municipality  7. Nabila Naggayi, omubaka omukyala owa Kampala 8. Isham Mafabi, wa bavubuka mu Buvanjuba  9. Florence Namayanja,  Bukoto East.

Abaawangulwa mu kamyufu ka NRM

10.   Evelyn Anite mubaka w’ekibuga kya Koboko 11.   Charles Ilukor, mubaka wa Kumi   12.   Oscar Omony, wa bavubuka mu bukiika kkono  13.   Mary Karoro Okurut, omubaka omukyala owa Bushenyi  14.   Musumba Isaac Isanga, mubaka wa Buzaaya  15.   Moses Kizige  wa Bugabula North  16.   Nakate Lilian omubaka omukyala owa Luwero 17.   John Bosco Lubyai  18.   Abraham Byandala, owa Katikamu North  19.   Peace Kusasira, omubaka omukyala owa Mukono 20.   Benny Namugwanya,omubaka omukyala owa Mubende  21.   Amos Mandera, owa Buyamba   22.   Michael Tusiime , ow’ekibuga kya Mbarara 23.   Lawrence Bategeka, ow’ekibuga kya  Hoima 24.   Muruli Mukasa, owa Budyebo  25.   Mayanja Mbabali, owa Bukoto South    26.   Henry Okello Oryem, owa Chua East    27.   Grace Kwiyucwiny , omubaka omukyala owa  Zombo  28.   Adolf Mwesigye, owa  Bunyangabu  29.   John Byabagambi, owa Ibanda South P  30.   Gabriel Ajedra, ow’essaza lya Vurra

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.