Bya Shafic Miiro
Bulange – Mmengo
Abayimbi ba ‘Ganda Boys’ okuli Dennis Mugagga ne Daniel Ssewagudde bakiise embuga ku Lwokubiri nebasisinkana Abataka Abakulu Ab’Obusolya okubanjulira enteekateeka zaabwe ez’okubunyisa Ekitiibwa kya Buganda.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo era bano baaniriziddwa Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba n’Abataka abalala.
Omutaka Nnamwama yeebaziza ba Ganda Boys olwa kaweefube gwe baliko, nagattako nti buvunanyizibwa bwa buli muntu okutumbula Obuwangwa bwe mu ngeri yonna esoboka.
Abasiimye olw’okubunyisa ekifaananyi ekirungi ekya Buganda mu Nsi yonna awamu n’omukwano gwebalina ku Buganda n’obuwangwa bwabwe.
Nnamwana Mutumba abeebazizza nnyo olw’obutasuulira gye bazaalwa newankubadde bawangaalira ennyo e Bulaaya, era abasabye okwongera okwagaziza obuwangwa bw’ Abaganda abantu abalala.
Jjajja Nnamwama bano abasuubiza okubatuusa ku Bataka abalala babasisinkane era abawadde obweyamo okubawagira mu mbeera yonna okulaba ng’omulimu gwe baliko ogw’okutumbula ennono n’obuwangwa bya Buganda gugguka.
Mugagga yeebaziza olw’ensisinkano era nayanjulira Abataka olugendo lwabwe nga bwe lwatandika okutuuka kati we bali kati, annyonyodde kaweefube gwe baliko okunoonya abantu 60 okuva mu Uganda abalina amaloboozi amalungi be banaatwala e Bungereza mu ‘Royal Albert Hall’ okwegatta ku ‘Choirs’ endala okuyimba Ekitiibwa kya Buganda.
Ono ayongeddeko nti baluubirira n’okuzimba ‘Theatre’ gaggadde gyebanakozesa okwongera okutumbula ebitone by’abantu omuli okuyimba, okuzina, okutontoma n’ebirala.
Ensisinkano eno era yeetabiddwamu omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa, Omutaka Eria Lwasi Buzaabo ng’ono ye Jjajja wa Mugagga, n’omukulu w’Ekika ky’Akasimba Omutaka Kabazzi Ssempuuma David Marvin Mitti ng’ono Jjajja wa Ssewagudde.
Abayimbi bano baatikiridde ennyo olw’okuyimba ennyimba ezirimu ebivuga ebinnansi awamu n’okuddamu okuyimba ekitiibwa kya Buganda ne kkwaaya ezamanyi mu nsi yonna.