Bya Ssemakula John
Kasangati – Kyaddondo
Poliisi mu Kampala etandise okunoonyereza ku ngeri Asikaali wa kampuni y’Obwannanyini gyeyalumbiddwa abalumbaganyi ne bamusala awamu n’okumukuba n’oluvannyuma nebatwala emmundu ye.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilaano, Luke Owoyesigire agamba nti bino byabaddewo eggulo ku Mmande ku ssaawa 1: 30 ezakawungeezi e Magere mu Kasangati.
“Asikaali wa kkampuni ya GKO security company yeyalumbiddwa nebamukuba ku mutwe awamu n’okumusalasala ku ssaawa 1: 30 era n’emmundu ye nebagitwala,” Owoyesigire bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Owoyesigire batuuseewo mangu era Asikaali ono nebasobola okumutwala mu ddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi awamu n’okutandika omuyiggo gw’emmundu eno eyatwaliddwa.
Bino webijjidde nga waliwo abalumbaganyi abatamanyika abagenda mu maaso n’okulumba ab’ebyokwerinda nga babatwalako emmundu zaaabwe.
Ku ntandikwa y’omwezi guno bano balumba poliisi ye Busiika e Luweero ku ssaawa emu eyakawungeezi. Abeerabirako bagamba nti bano abali wakati w’omukaaga n’omusanvu olwatuuka mu ttawuni nebalagira abatuuze okuggala amaduuka gaabwe olwo nebalumba poliisi.
Bano era bazzeemu okulumba egimu ku misanvu gy’oyitako okutuuka ku mulyango gwa Balakisi ya UPDF eya Gaddafi mu Jinja nebatta omujaasi eyabaddewo era nebatwala emmundu ye neya munne eyali agenze ku dduuka okubaako byagula.
Oluvannyuma lw’okusalako ekitundu kino, abebyokwerinda baliko omusajja gwebakwata awamu n’omujaasi ono eyali agenze ku dduuka bayambeko mu kunooonyereza.