
Bya Ssemakula John
Kampala
Amyuka Sipiika wa Palamenti, Anita Among asabye abantu okwesonyiwa eng’ambo ezitambuzibwa ku mitimbagano ku bulamu bwa Sipiika Jacob Oulanyah n’ategeeza nti akyali mulamu.
Oulanyah yaddusiddwa mu ggwanga lya Amerika wiiki ewedde gy’akyali n’okutuusa kati ng’afuna obujjanjabi.
Wabaddewo ebiyinting’ana nga biraga ng’embeera ya Sipiika Jacob Oulanyah bwe yatabuse ate abamu ne bategeeza nti yabadde avudde mu bulamu bw’ensi ekintu ekitali ekitabadde kituufu.
Mu bubaka bw’atadde ku mutimbagano gwe ogwa Twitter, Among agamba nti abantu tebalina kugendera ku ng’ambo zino kuba teziriimu makulu era bulimba bwennyini.
Okusinziira ku Among, Oulanyah akyafuna obujjanjabi era asabye bannayuganda okwongera okumusabira asobole okusukka amangu.
“ Bannansi bannange abaami n’abakyala, Omukulembeze waffe era muganda waffe Rt. Hon. Jacob Oulanyah ali mukufuna obujjanjabi okuva mu basawo abakugu. Temugendera ku bulimba obuli ku mitimbagano ku bulamu bwe. Mbasaba mumusabire assukke mangu.” Among bw’annyonnyodde.
Kinajjukirwa nti Ssabbiiti ewedde Omumyuka wa Sipiika yategeeza Palamenti nga Sipiika Oulanyah bw’ali omulwadde era nga yatwaliddwa mu ggwanga lya Amerika okusobola okufuna obujjanjabi obusingawo.
Among agamba nti yasobodde okwogerako naye era n’amukakasa nti embeera egenda etereera.









