Bya Ssemakula John
Kampala
Amyuka Ssaabalamuzi w’eggwanga, Richard Buteera alabudde abalamuzi okukomya okwetwala nga ab’ekitalo kuba kino kisiga okutya mu bantu nekibalemesa okufuna obwenkanya.
Okulabula kuno, omumyuka wa Ssaabalamuzi Buteera akukoledde Entebbe bw’abadde asisinkanye abantu ba bulijjo awamu n’abakulu mu ssiga eddamuzi mukitundu kino okukubaganya ebirowoozo.
Omulamuzi wa kkooti ensukkulumu, Buteera agamba nti abasibe bangi batulugunyiziddwa, basindikiddwa ku alimanda awamu n’okuweebwa ebibonero ebikambwe nebaleeta omujjuzo mu makomera n’okuleetera emisango okukandaalira.
Buteera ategeezezza nti enkolagana y’abalamuzi n’abantu ba bulijjo si nnungi nga abamu bamala gongezzaayo emisango ate abalala bebulaankanya ku mirimu.
“Kituufu waliwo abalamuzi abamu abakyalemedde mu nkola enkadde nga balowooza nti okubeera omulamuzi olina kwolesa lyaanyi. Nakyalirako ekkomera e Mubende nga omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako nensanga yo omusibe naye nga ono yali asibiddwa lwakuyisa lugaayu mu kkooti oluvannyuma lw’okuyingira mu kkooti nga ayambadde enkofiira, kyokka nakuumirwa ku alimanda okumala akaseera” Buteera bw’ategeezezza.
Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako Entebbe, Stella Maris Amabilisi yeemulugunyizza nga bwetalina woofiisi zimala nga kati abalamuzi 4 bonna emisango bagiwulirira mu woofiisi zabwe wabula ono Buteera yamusuubizza okulondoola ensonga eno.
Ye Ssentebe wa LC IIII ow’ebizinga bye Bussi Charles Mukalazi yeemulugunyiza ku ngendo abantu zebatambula okujja Entebbe basobole okufuna obwenkanya
Ku nsonga eno, Buteera agamba nti gavumenti y’ekitundu kino yamaze dda okuwaayo ettaka okusobozesa kkooti okufuna ebizimbe kisobozese abantu okufuna obwenkanya mu budde.