Bya Ssemakula John
Kampala
Gavumenti ya Uganda ekkirizza okusaba kwa Amerika okubudamya bannansi ba Afghanistan abawera 2000 abali kunoonya obubudamu oluvannyuma lw’abakambwe aba Talibani okuwamba obuyinza mu ggwanga eryo.
Okusaba kuno kwakoleddwa Pulezidenti wa Amerika, Joe Biden eggulo era oluvannyuma abakungu ba Amerika n’aba Uganda, baasisinkanye ku woofiisi ya Ssaabaminisita okulaba engeri y’okukwatamu ensonga eno.
Kyakakasiddwa nti abakulu ku njuuyi zombi baasisinkanye ku Mmande ekiro ne bakkiriza batandikire ku bantu 500 abalina okubudamizibwa mu ggwanga.
Minisita w’ebigwa tebiraze, Davinia Anyakun yagambye nti, “Twetegese okufuna ekibinja ekisooka era kino kituuka leero ku kisaawe Ntebe, bano okusinga babadde bakungu mu gavumenti ebaddeko era tetugenda kubateeka mu nkambi, tujja kugira tubakuumidde mu wooteeri.”
Okusinziira ku byavudde mu lukiiko, Amerika y’egenda okusasulira abakungu bano.
Bino we bijjidde nga Pulezidenti Joe Biden akyagezaako okumatiza Abamerika ku lwaki yaggye amajgye mu Afghanistan.
Wadde Uganda y’emu ku nsi ezisinga obwavu, y’esinga okuwa abantu obubudamu mu Africa ng’eweza akakadde k’abanoonyi b’obubudamu okuva e South Sudan, Democratic Republic of the Congo (DRC), Burundi ne Somalia.
Amawanga amalala agaddirira okuwa abantu obubudamu kuliko; Kenya, Sudan, DRC ne Ethiopia.
Omuwendo gw’abantu abanoonya obubudamu mu Uganda gweyongera buli lukya okuva mu 2013 nga buli lunaku abantu abawera 200 bajja mu ggwanga okufuna obubudamu.