• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obufuzi

Ameefuga ga Uganda tegalina makulu  – Aba NEED

Gambuuze by Gambuuze
October 10, 2022
in Eby'obufuzi
0 0
0
Ameefuga ga Uganda tegalina makulu  – Aba NEED
0
SHARES
20
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala

Bannakibiina ki National Economic Empowerment Dialogue  [NEED] ekikulemberwa Joseph Kiiza Kabuleta bagamba nti ameefuga ga Uganda tegalina makulu eri bannansi kubanga bakyatulugunyizibwa ebitagambika.

Bano bino babitegeezezza olukung’aana lwa bannamawulire lwebatuuzizza e Bugoloobi ku kitebe kyabwe ku Mmande nga boogera ku meefuga ga Uganda ag’emyaka 60.

Omwogezi w’ekibiina kino Moses Matovu agamba nti embeera eriwo mu ggwanga telaga kwefuga era nga byonna bivudde ku bakulembeze abatafaayo ku bannansi nga tewali nsonga lwaki gakuzibwa.

Matovu annyonnyodde nti ensi zonna Uganda zeyali esinga nga yakafuna obwetwaze zonna zagireka nga n’ebyobulimi ebyali biwa bannansi essuubi nabyo gavumenti ya Pulezidenti Museveni yabidobonkanya.

Ye Ssaabawandiisi w’ekibiina kino,  Asuman Odaka asinzidde wano nalaga ng’ebikolwa bya Pulezidenti Museveni okuwagira Omuyitale Enrica Pinneti atwale emmwaanyi z’eggwanga bweziraga nti tewali bannansi kyebafuna mukwefuga.

Okusinziira ku Odaka mu 1962 Uganda weyafunira obwetwaze nga buli ayagala obuyambi agenda ku poliisi naye  kati buli ajiraba agidduka ekyongera okukakasa nti okwefuga temwali makulu.

Abakulira NEED era balaze okutya ku ngeri ensonga z’okusima amafuta awamu nebyenjigiriza gyebikwatiddwamu mu ggwanga gyebagamba nti yakwongera okulinyika.

Bano era basinzidde mu lukung’aana luno nebanjula abakulembeze b’ekibiiba okuli; Asuman Odaka nga Ssaabawandiisim Ssetumba Godfrey Tamale nga ow’ebyensimbi, Maxwell Bigirwa nga ssentebe w’ abavubuka e Makerere awamu n’abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist