Bya Miiro Shafik
Namirembe – Kyaddondo
Abakristo bakubiriziddwa okwefumiitiriza ku bukulu bw’amazaalibwa ga Yesu Kristo.
Obulabirizi bw’e Namirembe butegese ennyimba z’amazaalibwa ga Yesu Kristu ez’akawungeezi ‘Carols by Candlelight’ mu Lutikko y’omutukuvu Paulo.

Omulabirizi w’e Namirembe eyawummula, Rt. Rev. Wilberforce Kityo Luwalira y’akiikiridde Omulabirizi Moses Banja. Ono yebazizza Katonda abatuusizza ku lunaku luno era ategeezezza nti ku lutikko balina enkola okutegeka okuyimba ennyimba z’amazaalibwa mu ssabbiiti 4 ezikulembera olunaku lw’amazaalibwa ga Kristu.
Omulabirizi Kityo Luwalira asabye Abakristu okujjukira amakulu g’ebiseera by’okujaguza amazaalibwa ga Kristu ng’agamba nti bangi beerabira ekiruubirirwa ekikulu ne bakulembeza emmere, okugenda mu byalo n’okubinuka.

“Bwetuyingira ebiseera nga bino, abantu bangi ebirowoozo bigendera mnyo ku kulya, okunywa, okutambula n’ebirala, ssi bibi naye Katonda atubeere ate omulamwa tuleme kugusuula, kubanga omulamwa kwe kumanya nti Yesu yajja n’abeerako gyetuli okutulaga ekkubo okuva ku mawulire nti waliyo obulamu obutaggwawo” Luwalira.
Omulabirizi Luwalira agamba nti ekiseera kino kya kwebaza, okwefumiitiriza n’okwekubamu ttooci nti singa Kristu akomawo okukima abantu anaasanga be yafiirira bakola ki?, balya mmere na kunywa oba batambulira ku bigambo bye?
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. Robert Waggwa Nsibirwa naye yetabye mu kuyimba ennyimba zino era nga y’asomye essomo ery’omunaana (8) kw’ago omwenda (9) agasomeddwa.
Owek. Nsibirwa yebazizza abayimbi abakulu aba lutikko eno wamu n’obulabirizi bwonna olw’enteekateeka eno gy’agambye nti eggula ebirowoozo by’abakristu era n’asomo ne gabajjukiza obukulu bw’olunaku luno ne bwe balina okweyisa, olwo abantu ne bayimusibwa mu kukkiriza.
“Mu kiseera nga kino, nga waliwo okusika omuguwa mu byobufuzi, omwaka omulamba abantu bangi bafiiriddwako abaabwe n’ebintu byabwe, omuntu bw’atuukako mu kkanisa n’awuliriza ennyimba nga zino, addamu essuubi n’okukakkanyizibwa okumanya nti omulokozi yajja okuleetaawo okwagalana mu bantu n’okukkiriza” Owek. Nsibirwa.

Ono asabye abantu wakati mu mbeera zonna ezibaawula naddala mu byobufuzi obuteerabira Katonda waali okulungamya abantu be bonna, era tebasaanye kusika muguwa ku bisobola okugonjoolwa.
Owek. Nsibirwa ayagaliza Abakristu bonna ekiseera ekirungi eky’okujjukira amazaalibwa ga Kristu n’omwaka omuggya gubeere gwa mirembe eri buli muntu.
Ku lutikko y’e Namirembe eno wajja kubaayo ennyimba z’amazaalibwa endala za mirundi 2; ‘Carols by Sunset’ nga 14, Ntenvu ne Christmas Cantanta nga 21, Ntenvu.









