
Bya Ronald Mukasa
Kampala – Kyaddondo
Minisita w’Obulimi, Obusuubuzi, Obuvubi n’Obwegassi, Owek. Hajji Amis Mukasa Kakomo, mu bubaka bwe obwagaliza Kabaka amazaalibwa amalungi, yeebazizza Katonda olw’obukulembeze bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II obuyambye ennyo okutumbula Obulimi n’Obweggasi eky’ongedde okusitula Enkulaakulana mu Buganda.
Owek. Kakomo agamba nti bukya Beene atuula ku Nnamulondo enkulakulana mu bantu be yeeyongera buli lukya era yeebaziza abantu ba Buganda olw’okubeera abawulize eri Kabaka.
Ono anokoddeyo eky’abantu okwettanira okulima emmwanyi n’okulunda byagamba nti byeyongedde ebitundu 40/100 okwo ssaako n’ebibiina by’obwegassi ebitandikiddwawo ebiyambye ennyo mu kutumbula embeera z’abantu mu Buganda ne Uganda okutwalira awamu.
Kakomo era ayogedde ku bannamikago abenjawulo abetanidde nnyo Obwakabaka kyagamba nti kivudde ku nkola ey’obwerufu Maasomoogi gyaludde ng’akubiriza Gavumenti ye n’abantu be.
Akubirizza abantu ba Beene naddala abawangaalira ku myalo ne nnyanja saako n’abakola mu butale obutalagajalira bulamu bwabwe, bwatyo abasabye beekebeze obulwadde bwa Mukenenya nga Kabaka bwatadde amaanyi mu kubulwanyisa era abasabye n’obutasosola bannaabwe abawangaala n’akawuka.
Oweek. Kakomo era akunze abantu ba Buganda okwetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Nnyinimu egy’okubeerawo nga 7 omwezi ogw’okuna okusobola okukwasiizako Ssaabasajja mu kulwanyisa nawokeera wa siriimu.