
“Tuli basanyufu nnyo ddala okutuuka ku lunaku luno kwetujjukirira amatikkira ga Kabaka agomulundi ogwa 31. Twebaza Katonda olwobulamu bwatuwadde, nobujjanjabi bwetufunye munsi ezenjawulo. Twebaza abasawo olwobujjanjabi ate era bakyatujjanjaba.
Wewawo obulamu bwaffe bweyongedde okutereera, Naye olwembeera n’ebiragiro by’abasawo tetusobodde kubeegattako nga bwegubeera bulijjo.
Twebaza Omulabirizi we Namirembe Moses Banj, dean wa Lutikko nabaweereza bonna abakulembeddemu okusaba kuno.
Newankubadde tetubaddeewo nga tuli ebweru okujjanjabibwa, ebintu byonna ebibaddewo tubadde tubigoberera bulungi.
Olugero olugamba nti … Enkuba Eryokanga neetonnya…Netulaba ensiisira bwezenkanya emyoyo, Olugero olwo lutuukiridde.
Bulijjo tubakuutira okwegatta, okukuuma n’okussa ekitiibwa mu nnono n’empisa zaffe. Wano omulabe wayinza okuyita singa tugayaalirira ensonga zino.
Embeera gyetuyiseemu mu myezi egiyise eviiriddeko abantu abamu mu butamanya, oba mu bugenderevu, okuvvoola n’okumenya empisa yensi n’okweyisa mu ngeri etesaanidde. Bakoze ebintu bingi okuwubisa abantu baffe ebikwata ku Namulondo n’obwakabaka. Kino kyabulabe ddala. Abantu abo musaana okubeegendereza ddala.
Nolwensonga eyo, tujjukiza Abantu baffe Ensonga zino:
1. Kabaka alina emisoso n’enkola egobererwa nga atuula ku Namulondo era Kabaka talondebwa bataka abakulu ab’obusolya. Abataka ab’enkizo bamanyiddwa bulungi nabo beemanyi era bamanyi n’obuvunaanyizibwa bwabwe.
2. Kabaka alamula obwakabaka nga ayambibwako Katikkiro, yye kabaka yenyini gwaba yelondedde era Kabaka taba na musigire.
3. Mu nnono zaffe, Kabaka alina eddembe okuteekawo oba okudibya empisa ezimu okusinziira ku mulembe nga bwegubeera.
Twebaza abantu bonna nokusingira ddala abavubuka baffe, abo bonna abali emitala wamayanja, olw’omukwano n’obuwulize eri Namulondo. Kisaanidde omukwano ogwo gukuumibwe era gulagibwe nga mulimu empisa n’obuntu bulamu nga bwekimanyiddwa okuva edda n’edda.
Twebaza Abantu bonna abeetabye mu kusaba kuno. Mukama abeera nammwe, nsanyuse nnyo okubabuzaako” – Kabaka.









