Bya Shafik Miiro
Nkumba – Busiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye abantu okukimanya nti amateeka agaliwo kati galeetebwa Bangereza nga bwegatyo tegalina kudibya byaffe.
Obubaka buno Katikkiro Mayiga abuweeredde ku Nkumba University ku Lwokubiri ku mukolo gw’olunaku lwa Bannamateeka ba Ssetendekero eno olw’omwaka guno.
”Obuwangwa n’ ennono zaffe mwemwasibuka amateeka abantu wano mu Buganda gebatambulirangamu era gebagobereranga, nolwekyo kikulu nnyo naddala eri bannamateeka okutegeera enkizo ennono n’ obuwangwa byebulina, ” Katikkiro bw’ ategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti singa bannamateeka bategeera bulungi ennono n’ obuwangwa kyebitegeeza eri abantu kibeera kyangu okumalawo obukuubagano singa etteeka ly’ abazungu likontana nebyo abantu byebakiririzaamu.
Ono asabye ebyenjigiriza ebiweebwa bannayuganda bibayambeko okubazibula amaaso era bibayambe okutegeera nti byebakiririzaamu sibyawansi, ssi bya sitaani wadde okubeera ebyemabega nga abamu bwebalowooza naye byetaaga kuterezaamu bituukane nembeera eriwo kati.
Ettendekero aliwadde amagezi okusimba amakanda ku nnimi ennansi wamu n’ ebyafaayo bye ggwanga lino kuba bino bijja kuzibula abantu amaaso olwo bakwasaganye amateeka amazungu nebyo byebakiririzaamu.
Minisita w’ Ebyenjigiriza mu Bwakabaka, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko ategeezezza nti essomo n’ omulimu gwa mateeka bikulu nnyo era balina okukuuma ekitiibwa kino.
Owek Nakate annyonnyodde nti Beene afuba okulaba nti abavubuka abayita mu ssomero beeyongera obungi nga atandikira ku mutendera gwa Nnasale mu buli ssaza.
Kulwa Omumyuka wa Cansala Prof. Jude Lubega, Omuwandiisi w’ ettendekero lino, Prof. Francis Kasekende agambye nti waliwo akakwate akamanyi wakati w’ obuwangwa, ennono n’ amateeka nga bwekityo bino birina kutambulira wamu okugasa ensi wabula ssi kimu kusanyaawo kirala.
Kamalabyonna awerekeddwako Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ne Minisita Noah Kiyimba owa Kabineeti, Olukiiko n’Ensonga ez’enjawulo mu Woofiisi ya Katikkiro.