Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Empaka z’Obwakabaka amasomero mwe gavuganyiza mu kwolesa ebitone ezimanyidwa nga Buganda Royal Arts’ Shield Festival (BRASHFEST), omwaka guno zitegekeddwa ng’enteekateeka ekulembeddemu okujaguza amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 71 era ziyindidde ku Muteesa I Royal University e Kakeeka Mmengo.

Amasomero ku mutendera gwa pulayimale ne siniya ge geetaba mu mpaka zino okuvuganya mu kuyimba, okutontoma, okuzannya katemba, amazina, n’okusoma bwino mu lulimi Oluganda, ez’omwaka guno zitambulidde ku mulamwa ‘Tutumbule ebyenjigiriza ebigasa obulamu’.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule y’akiikiridde Katikkiro Mayiga ku mukolo guno era mu bubaka bwe anyonnyodde amakulu g’okukuza ebitone mu bayizi ku mitendera gyonna era yebazizza nnyo abakulu b’amasomero abaakitwala nga ensonga okukuza ebitone by’abaana.
“Abakulu b’amasomero mwenna abategeera amakulu agali mu nnyimba n’emizannyo ne musobola okuwa abayizi baffe omukisa okwetaba mu mpaka zino mwebale, kikulu nnyo abakulu abatwala amasomero gaffe okuwa abaana omwaganya okufuna ebitone ebyenjawulo era kino kibayamba okukula obulungi, okukuza obwongo ate n’okuzuula ebitone byabwe” Mugumbule.
Owek. Mugumbule ku mulamwa empaka zino kwe zitambulidde ogw’okutumbula ebyenjigiriza ebigasa obulamu, akakasiza nti amaloboozi abayizi ge bakozeseza gakyusiza endowooza z’abantu, gasanyusa era gawummuza obwongo ng’omuntu ate bw’anyumirwa, ate bwe kituuka ku mazina n’emizannyo omwana awa omubiri gwe omukisa okwetaaya n’okweddaabulula, omusaayi nga gutambula bulungi n’ebinywa nga byegolola bulungi, nga bino byonna biwa omwana obulamu obulungi.

Mu bubaka bwe era avumiridde abalina endowooza nti omuntu atasomye asinga oyo asomye, anyonnyodde nti newankubadde bombi basobola okuwangula mu bulamu, naye asomye abeera n’enkizo n’ennene kati nga mu kufuna ebifo by’obukulembeze, ate nga n’emirundi mingi atasomye ne bwabeera bulungi mu bulamu yetaaga abaasoma nga bannamateeka, abasawo n’abalala okusobola okubeera n’obulamu obugonvu. Bwatyo akubirizza abayizi abeetabye ku mukolo guno okufaayo ennyo ku misomo.
Owek Mugumbule akonye ku nteekateeka y’Obwakabaka eya Situla Omutindo ng’asiima empaka zino okukwata obuteerevu ku nnyingo ey’omukaaga eyongera ku kutumbula ebitone naddala mu bavubuka. Akubirizza abayizi bye batendekebwa okubitwala nga bikulu ddala.

Minista w’enkulakulana y’abantu mu Bwakabaka Owek. Choltilda Nakate Kikomeko alaze nti ensonga z’okutumbula ebitone mu Buganda tezitwalibwa nga za lusaago wabula ziteekebwako ddala amaanyi ku lw’obukulu bwabyo ng’eno y’ensonga lwaki ebitone gwe gumu ku miramwa egiri mu nteekateeka ya Situla Omutindo, buli muvubuka azuule era akuze ekitone kye.
Ssaalongo Kintu Guluddene ye Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka empaka zino ategeezezza nti mu byonna ebivuganyizidwamu abayizi balaze amaanyi mu kuyimba n’okuzina kyokka ate obunafu businze kulabibwa mu kusoma bwino w’oluganda nga kirabidwa nti okusoma oluganda tekwetannidwa nnyo bayizi mu masomero.
Empaka z’omwaka guno ku mutendera gwa pulayimale ziwanguddwa Good Times Infant School erisangibwa e Kawaala, ate ku mutendera gwa siniya ziwanguddwa Wampeewo Ntake SS n’eddirirwa Lubiri High School ettabi ery’e Mmengo. Minisita Choltilda Nakate Kikomeko y’akwasizza abawanguzi ebirabo.
Amasomero ag’enjawulo gayimbibye ennyimba esikulisa, ezisuusuuta, eziwaana, n’ezebaza Katonda olw’emyaka 71 egya Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II. Abalamuzi abasaze empaka zino kubaddeko Dr Anatooli Kiriggwajjo, Mw. Nsereko John, Muky. Nantumbwe Harriet, Muky. Nambi Lydia, Mw. Mulindwa James, Mw. Kalule Stephen Lwanga.









