Kampala
Amasomero agasoba mu 400 mu Kampala ge gaweereddwa olukusa okuggulawo olusoma lwa ttaamu eyookubiri eri abayizi abamalako omutendera ogumu okugenda ku mulala (Candidates).

Kino kiddiridde okulambulwa Minisitule y’ebyenjigiriza n’ekitongole kya Kampala Capital City Authority-KCCA.
Akulira ebyenjigiriza mu KCCA, Juliet Namuddu, agambye nti balambudde amasomero agatadde mu nkola ebiragiro by’okwetangira ekirwadde kya Ssennyiga Corona era nebakkiriziganya n’abakungu okuva mu Minisitule y’ebyenjigiriza okuwa ssatifikeeti ago agatuukirizza ebiragiro bino, gasobole okuggulawo.
Okusinziira ku Namuddu, amasomero agaalambuddwa bagasengese nebagawa obubonero era ng’eryo eryafunye obubonero 60 ku 100 n’okwambuza gakkiriziddwa okuggulawo ate abafunye obuli wansi balina byebalina okusooka okutereeza.
Namuddu agasseeko nti amasomero gano gagenda kuweebwa ssatifikeeti okuva mu kitongole ekitwala ebyenjigiriza mu KCCA era nga gano galina eddembe okutandika okusomesa abayizi.
Ono annyonnyodde nti waliwo amasomero 150 mu Kampala ge batannalambula olw’okubeera n’abakozi abatono naye nga batumizza abakungu abalala okwongera okubayambako okutuukiriza omulimu guno.
Namuddu agambye nti amasomero ge baalambudde negalemwa okukung’aanya okuyita akasengejja, galina okutereeza ebyali bitatuuse baddemu bagalambule era aganaaba gasaanidde bagawe olukkusa okuggulawo.
Ono awadde abazadde amagezi okusaba abaddukanya amasomero abaana baabwe gye basomera ssatifikeeti ezibakkiriza okuggulawo si nsonga amasomero ga kisulo oba nedda, kiyambe abayizi obutakwatibwa kirwadde.
Namuddu asuubizza okufulumya olukalala lw’amasomero agakkiriziddwa okukola ku lunaku lwa Mmande kiyambe abazadde okusalawo obulungi.
Bya URN