Bya URN
Omuvuzi wa Boda boda n’omusaabaze gwabadde aweese bafiiriddewo mbulaga oluvanyuma lwa waya z’amasanyalaze okubagwira nga bagenda mu katale akamanyiddwa nga Amber Coat.
Abatiddwa ye Swaibu Mugenyi ne Juliet Auma gwabadde aweese.
Bano amasanyalaze gaabakubidde ku luguudo olumanyiddwa ga Tobacco ku kyalo Masese mu divizoni y’e Walukuba mu disitulikiti y’e Jinja.
Omu kubeerabiddeko n’gaabwe, Edisa Nabukenya,
nga naye amasanyalaze gaamukubye, yagambye nti yalabye nga waya zigwa ku ppikipiki
ya Mugenyi nga baakamuyitako.
“Bampiseeko nga ngenda mu Katale e Jinja naye nga nedakiika tennawera, nalabye waya nga zibagwako nange n’empulira amanyi amayitirivu nga gansindika,” Nabukenya bweyagambye.
Sylvia Maddu, omusuubuzi ku mwalo gw’e Masese yagambye nti beegayiridde aba Umeme, ekitongole ekikola kukubunyisa amasanyalaze mu ggwanga emirundi mingi okukyusa ebikondo ebikaddiya wabula nebeerema.
Aba URN bwebaatuukiridde aba Umeme beeremye okubaako kyebayogera nga bagamba bagenda kusooka kunonyereza kulaba ekyaviiriddeko akabenje kano.
Kyokka omu ku bakozi ba Umeme ataayagadde kwatuukirizibwa linnya, yagambye nti ebikondo by’amasanyalaze byanafuye oluvanyuma lwa batamanyangamba okubba waya ezimu sabbiiti eno.
Wabula kaweefube
waabwe okuddabiriza ebikondo bino yagudde butaka oluvanyuma lw’okulemesebwa
bannamakolero nga bagamba tebaagala okujjako masanyalaze mu nnaku zawiiki nga
bakyakola.
Mohammed Ssebuliba, akulira poliisi y’e Walukuba yagambye
okunonyereza kwatandise okuzuula kiki ekyabaddewo.
Ono yayongeddeko nti emirambo gyababiri bano baagitutte mu eddwaliro ekkulu e Jinja okuzuula kiki ekyavuddeko okufa kwabwe.