Bya Shafik Miiro
Namirembe – Kyaddondo
Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa agamba nti bulijjo amaka agatebenkedde gegawanirira obuwanguzi n’okulaakulana.
Obubaka buno, Owek. Waggwa abuwadde akiikiridde Katikkiro Charles Peter Mayiga mukusaba Canon John Fred Kazibwe ne Dr Anne Kazibwe kwebajaguliza okuweza emyaka 25 mu bufumbo obutukuvu mu Lutikko e Namirembe.
Katikkiro Mayiga mu bubaka bw’aweereza abajaguza, abeebazizza naddala Canon Kazibwe olw’obwagazi n’olw’okuweereza Kabaka n’Obwakabaka mu bigambo ne mu bikolwa, era abakulisiza okutuuka ku kkula ery’emyaka 25 mu bufumbo nga bakuumagana n’okuwagiraŋŋana mu mirimu.
Owek. Nsibirwa naye asinzidde wano n’ategeeza nti amaka agatebenkeddee gawanirira obuwanguzi kubanga obutebenkevu bw’amaka butegeeza emirembe buli omu gy’awulira mu munne wakati w’abafumbo n’abaana.
Owek. Waggwa agattako nti emirembe buli muntu gy’afuna ewaka, gimwongera amaanyi okutambuza obufumbo obulungi ate nga n’emirimu omuntu agikola talina bunkenke bwonna.
Ono era yeebazizza abajaguza olw’okukumaagana obulungi mu bufumbo okutuuka ku kkula ery’emyaka 25 nga buli omu akyawulira emirembe mu munne.
Wano era ayogedde ku Canon Fred Kazibwe ng’omuntu omuvumu, omuvumbuzi, omuyiiya, ate nga muntu asalawo wakati mu kwebuuza n’okwetegereza, era azuula ebitone mu balala n’abayamba n’okubikuza.
Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, The Most Rev. Stephen Kazimba Mugalu nga y’akulembeddemu okusaba ategeezeza nti Obufumbo Katonda ye yabuteekawo ng’ayagala Omwami n’Omukyala babeeragane era y’ensonga eyamutondesa Eva ng’amuggya mu lubirizi lwa Adam.
Ayongeddeko nti okwebaza Katonda olw’emyaka 25 mu bufumbo kyakulabirako eri abantu bonna naddala eri abo abeerimbika mu bikolwa eby’obufumbo obw’ebikukujju okumanya nti obufumbo bubeera bwa mukazi na musajja era basobola okuwangaala bonna ne babala ebibala.