Alipoota efulumiziddwa ku kulima emmwaanyi eraga nga Uganda bwekwata ekifo ky’omunaana mu nsi yonna, ekitegeeza nti yemu kwezo 50 ezitunuuliddwa ennyo okuliisa akatale k’ensi yonna.
Okunoonyereza kuno kw’ Alipoota ya ‘World Population Review report of 2023’ kulaga nti Brazil ekyakulembedde nga eddirirwa Vietnamu, Colombia, Indonesia ne Ethiopia.
Mu kifo eky’omukaaga mulimu Honduras, India mu nnamba musanvu olwo Uganda neddako mu nnamba munaana. Kuno kuddako amawanga okuli Mexico, Guatemala, Peru, Nicaragua ne China.
Ku muliraano e Kenya bali mukifo kya 16 ate nga Rwanda eri mukifo kya 30 munsi yonna.
Ebibalo biraga nti Brazil efuna obuwumbi bwa pawundi, 5,714,381,000, Vietnam obuwumbi 3,637,627,000, Colombia efuna akawumbi ka pawundi 1,785,744,000, Indonesia efuna 1,455,050,000, ate Ethiopia efuna obuwumbi bwa Pawundi, 846,575,000.
Eggwanga lya Honduras lifuna obuwumbi bwa pawundi 767,208,000, India 767,208,000, so nga Uganda efuna 634,931,000 ne Mexico nefuna obuwumbi 515,881,000.
Alipoota eno era enokoddeyo amawanga ekumi agasinze okulima emmwaanyi mu bungi nga kuno kuliko; Brazil, Vietnam, Colombia, Indonesia, Ethiopia, Honduras, India, Uganda, Mexico ne Guatemala.
Kitegeeza nti Uganda erinnye ebifo bibiri biramba kuba alipoota eyasooka okukolebwa aba Eleven Coffees mu 2022 yalaga nti Uganda yali mukifo kya 10 ne ‘Metric tons’ 255,000 ate nga Brazil eyali ekulembedde yalina obungi bwa ‘Metric tons’ 3,558,000.
Eno eggwanga lya Ethiopia yali eriteeka mu kifo kyakutaano ne ‘Metric tons’ 441, 000.
Aba Eleven Coffees balaga nti emmwaanyi ezisinga okulimwa ky’ekika kya Robusta n’ebitundu 82 ku buli 100, Arabica ali mu kyakubiri nebitundu 18% era ku bungi buno bwonna Uganda ekolako ebitundu 2.4 ku buli 100 kwezo ezirimibwa mu nsi yonna.
Mu kiseera kino Uganda etunda ensawo z’emmwaanyi obukadde 8 ku katale k’ensi yonna wabula olwa kaweefube wa Buganda ow’emmwaanyi Terimba awamu n’enteekateeka endala ez’ekitongole ki Uganda Coffee Development Authority, Uganda eyagala omwaka 2030 wegunatuukira nga etunda ensawo obukadde 20.
Singa kino kituukirira Uganda ejja kuba ku gamu ku mawanga asatu agasinga okulima emmwaanyi mu nsi yonna.
Bya Business Focus