Bya Ssemakula John
Kampala – Kyaddondo
Okunoonyereza okukoleddwa ekibiina ekitaba bannakyewa abalwanirira eddembe ly’ abaana gu ‘Coalition of Civil Society Organisations Advocating for Children’s rights’ kuzudde nti omuwendo gw’abaana abalenzi abawasibwa abakazi abakulu gweyongedde.
Eyakuliddemu okunoonyereza kuno, Caroline Bankusha ategeezezza nti mu Buganda ebikolwa bino bisinze kulabikira Buddu naddala mu disitulikiti ye Kyotera.
Okusinziira ku Bankusha e Kyotera ebitundu 40 ku buli 100 ku balenzi abawasibwa abakyala bano abakulu babeera beerimbise mu kigendererwa kyakufuna nsimbi era bano okusinga bali wakati w’emyaka 15 – 19 egy’obukulu.
Ono annyonnyodde nti abakyala bano obulenzi buno basinga kubusanga mu bifo ebisanyukirwamu omuli ebbaala n’ebikaali ng’eno gyebasinziira okubulimbalimba ne ssente oluvannyuma nebabutwala mu maka gabwe okubufuula obwami.
Embeera eno eri nnyo ku kyalo Bugaaju mu ggombolola ye Kirumba mu disitulikiti ye Kyotera era wano Bankusha wasinzidde nasaba gavumenti eveeyo okukoma ku bakyala bano.
Bino webijjidde nga ebyakasembayo okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kubala abantu n’ebintu mu ggwanga ki, ‘National Population and Housing Census’ kyamala okulaga nga omuwendo gw’abawala n’abalenzi abatwalibwa mu bufumbo nga tebaneetuuka bwegwongera okulinnya buli lukya.
Mu ggwanga lyonna ebikolwa bino bisinga Buvuma, Kalangala, Kyegegwa, Buyende, Otuke, Namayingo, Mayuge, Kakumiro, Buliisa,Nwoya , Kyegegwa ne Oyam.