
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Akulira ekitongole ky’Obwannakyewa ki Rotary International, Stephanie Urchik asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga neyeeyama okwongera okuwagira enkolagana n’Obwakabaka okukyuusa embeera z’abantu.
Ensisinkano eno ebadde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri era wano bannakyewa bano baweze okukola kyonna okuwagira emirimu gy’Embuga.
Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, Pulezidenti Stephanie Urchick ategeezezza nti amaze ebbanga nga awulira enteekateeka z’Obwakabaka nga kaakiise Embuga enkolagana yaakweyongerera ddala era eveemu ebibala ebinene.
Stephanie Urchick yeebazizza Obwakabaka olw’okukolagana ne Rotary okusobola okuggyayo ebigendererwa byaayo okukyuusa embeera z’abantu.

Ono annyonnyodde nti mu Rotary tebakolerera kusasulwa kubanga ensimbi ssi y’empeera gyebanoonya wabula okuleeta essanyu mu bantu naddala abeetaaga okubeerwa.
Wano Kamalabyonna Mayiga amwanjulidde ebyo obwakabaka bye bukola nga buyita mu mukago gwabwo ne Rotary, omuli, eby’obulamu, ebyenjigiriza, nebyenkulaakulana.
Owek. Mayiga yeebazizza Banna Rotary olw’okutambulira ku miramwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II gyazze asimbako essira.
Mukuumaddamula, agamba nti ssi kyangu omuntu okukola ekintu nga talina waafuniramu bwati neyeebaza Banna Rotary bano olw’omulimu omulungi gwebakola eri ensi.
Rotary International ekoze ebintu ebiwerako omuli; okuwoma omutwe mu kuzimba etterekero ly’omusaayi e Nsambya, okuyamba ku baana abalenzi n’abawala, okugogola enzizi n’okuzimba nayikondo nga babunyisa amazzi amayonjo mu bantu, okulwanirira obutondebwensi n’ebirala bingi.

Kinajjukirwa nti Rotary International erina Bammemba abakunukkiriza mu kakadde kamu n’ekitundu okwetoloola ensi yonna nga beewaayo okukola obwannakyewa okuyamba abalala okwetoloola ensi yonna.
Bano balina Rotary Clubs ezisoba mu mitwalo 46 okwetooloola ensi era nga bazze bakola ku miramwa egyenjawulo naddala egyo egyekuusa kukutumbula embeera z’abantu okwetoloola ensi yonna.









