Bya Ssemakula John
Kyaggwe
Ekitongole kya Buganda Land Board (BLB), kikyusizza ababadde bakulira amatabi ag’enjawulo mu ssaza Kyaggwe okusobola okwongera okunnyikiza empeereza mu kitundu kino, abantu ba Beene basobole okuganyulwamu.
Mu nkyukakyuka ezikoleddwa olwaleero ku Lwokusatu, Kimogofu Yosiya abadde akulira ekitongole kino mu Kyaggwe akyusiddwa n’atwalibwa e Nansana era obuvunaanyizibwa n’abukwasa Brain Namuyimbwa ku mukolo oguyindidde ku mbuga y’essaza ku kyalo Ggulu mu kibuga Mukono.
Abaweereddwa obuvunaanyizibwa basabiddwa okukolagana obulungi n’ebitongole ebya gavumenti eyaawakati n’abatwala essaza lino okusobola okuweereza obulungi abantu.
Okusinziira ku mukungu w’ekitongole kino, Denis Bugaya agumiza abantu mu kitundu kino okukimanya nti enkyukakyuka nga zino zibeerawo era tebalina kutya bw’atyo n’asaba abapya abaleeeteddwa okukolagana obulungi n’abantu be kitundu kino.
Bugaya akubirizza bano okubeera abeegendereza nga bakola ku nsonga ze ttaka lya Buganda kuba essaza Kyaggwe lye limu ku gasinga okubeeramu ettaka ly’Obwakabaka.
Bw’atyo akunze bannakyaggwe okulaba nga basasula obusuulu okusobola okunyweza obwannannyini bwabwe ku ttaka lino.
Ate Ssekiboobo Elijah Bogere Lubanga Mulembya asabye abakwasiddwa woofiisi y’e Kyaggwe okukwatagana obulungi n’abaami b’essaza lino emirimu okutambula obulungi.