Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abatwala ekitongole ki Habitat for Humanity International (HFHI) ku mutendera gw’ensi yonna, Jonathan Reckford naakulira ‘International Monetary Fund (IMF)’ mu Afirika, Maurice Makolo bakiise embuga enkya ya leero nabawera okugenda mu maaso n’okuyamba abantu abeetaaga okubeerwa mu Uganda n’ensi yonna.
Bano basoose kusisinkana Omumyuka wa Katikkiro Ow’okubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, abatembeese nebasooka basisinkana Katikkiro Charles Peter Mayiga abeebazizza olw’omutima omulungi gwebalaga abantu ba Beene.
Owek. Mayiga bano abategeezezza nti wadde omulimu gubadde gukoleddwa naye waliwo obwetaavu bw’abantu okufuna amayumba bukyali bungi mu ggwanga.
Akulira ebitongole ki ‘Habitat for Humanity,’ Jonathan T. M. Reckford ategeezeza nti okusobola okukola obulungi omulimu gwebaliko, gavumenti ebakwasizeeko ng’ ebakolera enguudo , amalwaliro nebirala kyanguyize abantu obulamu.
Ono yeebazizza Obwakabaka olw’omulimu ogwo, n’okubwebaza olw’okusoosoowazanga enteekateeka ezitumbula embeera z’abantu.
Reckford yeeyamye kulwa Habitat for Humanity beeyamye okwongera okuwagira enteekateeka y’okuzimbira abeetaaga okubeerwa amayumba.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika, abanjulidde enteekateeka z’Obwakabaka ezitumbula embeera z’abantu naddala abeetaga okubeerwa mu nkola ey’Amaka Amalungi, n’Akalo Amatendo.
Owek. Robert Waggwa Nsibirwa asinzidde muno nategeeza nti obwakabaka bugenda kutalaaga amasaza gonna okunoonya abantu abo abyinza okukwasizaako abantu okufuna ewokusula awalungi. Aliko neteekateeka gyabanjulidde.
Ono abalaze nga bwebategese okuzimbira abantu ennyumba 13 omwaka guno ogwa 2023 mu nteekateeka eno okusobola okutumbula embeera zabwe.