
Bya Ssemakula John
Kampala
Akulira bannamateeka b’ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Anthony Wameli abadde ajjanjabirwa mu ggwanga lya Amerika gyeyaweebwa ekitanda mu 2021.
Pulezidenti w’ekibiina ki NUP, Robert Kyagulanyi, amanyiddwa nga Bobi Wine yabikidde eggwanga ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okufuna amawulire gano.
“Kitalo! Nfunye amawulire ag’ennaku ag’okufa kwa muganda waffe era akulira bannamateeka baffe Wameli Anthony afiiridde mu ggwanga lya Amerika gyabadde ajjanjabirwa. Ebisingawo tujja ku bibategeeza,” Kyagulanyi bw’ ategeezezza nga ayita ku mutimbagano.
Wameli yaweebwa ekitanda mu ddwaliro lya St. Anthony medical center e Kasangati, mu Wakiso mu 2021 oluvannyuma lw’okulumizibwa mu lubuto wayita akaseera katono mukyalawe Olive Wameli nategeeza nti ono yali takyasobola nakwogera.
Mu mwezi gwa June wa 2021 Wameli yatwalibwa ebweru w’eggwanga mu ddwaliro lya Boston Medical Center e Massachusetts mu Amerika nebakizuula nti ono yalina ekirwadde kya kkansa era kyekimusse.
Kinajjukirwa nti Wameli yali munnamateeka w’abamu ku bawagizi b’ekibiina ki NUP abaalina emisango egy’enjawulo mu kkooti enkulu, era yaliko munnamateeka wa Ssaabayeekera wa ADF, Jamilu Mukulu agambibwa okutta Afande Felix Kaweesi n’okwegeza mu kutta Gen. Katumba Wamala.
Ono olw’obukugu bweyayolesa mu misango egy’enjawulo Wameli yalondebwa ekibiina ki ‘Uganda Law Society’ nga munnamateeka w’omwaka 2021.
Wameli ye mutandise wa kampuni ya Wameli and Company Advocates nga bano bebali mu mitambo gy’omusango oguvunaanibwa Charles Olim amanyiddwa nga Sipapa ne mukyala we ku bigambibwa nti babba ssente n’eryanyi awamu n’okukusa ssente oguli mu kkootiu esookerwako e Makindye.









