Town Council y’e Buwama ekkirizza akatale k’e Mbizzinnya okuddamu okukola.
Akatale kano akasangibwa ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka kaggalwawo wiiki ewedde oluvannyuma lw’akakiiko akakola ku COVID-19 mu disitulikiti y’e Mpigi nga abasuubuzi balangibwa obutagoberera biragiro bya pulezidenti Museveni ku kwetangira ekirwadde kya Kolona.
Akatale kano kagguddwawo ku Lwokubiri oluvannyuma lw’abakakoleramu okukkiriza okugoberera ebiragiro bya gavumenti.
Akulira eby’obulamu mu ggombolola y’e Buwama Edison Nabaasa Mugume yagambye abasuubuzi bagenda kukola mu bibinja by’abantu 20 okwewala omujjuzo mu katale wamu n’okugoberera enteekateeka ya tonsemberera.
Akatale kalina abasuubuzi 100.
Nabaasa yategeezezza nti abasuubuzi bano bakkirizza okwambala obukookolo buyite mask, wamu n’okunaaba mu ngalo ssaako n’okukozesa sanitizers.
Joseph Ssempijja, akulira eby’emirimu ku lukiiko lw’e Mpigi yagambye nti era basazeewo obutakkiriza bagenyi bonna mu katale.
Omumyuka wa kulira akatale kano
Rehma Namubiru, ye yategeezezza nti abakozi abalala mu katale kano baawereddwa olwo kwewala omujjuzo.
URN