Bya Ssemakula John
Kampala
Oluvannyuma lw’okuddamu okusunsulwamu okujjuza ebifo mu Buganda ebyali birekeddwa olunaku lw’eggulo, leero akakiiko ak’okuntikko mu kibiina kya National Unity Platform, bafulumizza olukalala lw’abamu ku buwanguzi b’ebifo bino.
Mu bamu ku bafunyeemu kwe kuli Kkansala w’e Kawempe, Muhammad Sseggirinya ng’ono abadde avuganya eyali akulira abayizi ku Ssettendekero w’e Makerere Roy Ssemboga, okukwata kkaadi y’ekibiina ku kifo ky’omubaka wa Kawempe North mu Palamenti.
Munnamawulire Kazibwe Bashir naye akakasiddwa okukwata bbendera ya NUP ku kifo ky’omubaka wa Kawempe South ng’abadde avuganya Sulaiman Kidandala.
Omubaka wa Lubaga North, Moses Kasibante, asuuliddwa kkaadi n’eweebwa Sipiika wa Kampala Capital City Authority, Abubaker Kawalya, ate ye Omubaka Allan Ssewannyana afunye kkaadi ku kifo kya Makindye West.
Akakunguta Ssajjalyabeene Ssempala Kigozi kamusudde kkaadi ya Makindye Ssaabagabo netwalibwa Sserukenya David, mu Busiro South kkaadi etwaliddwa Matovu Charles.
Abalala abawangudde kkaadi zino kuliko; Fred Kintu Lwanga owa Bujumba mu Kalangala, Edward Mande akutte ey’e Ntwetwe mu Kyankwanzi, Bukoto west bagiwadde Kamanzi Francis, Bukoto South ya Kagabo Twaha Muzeeyi, Omubaka omukyala owa Masaka etwaliddwa Nakiyemba Harriet.
Kkaadi ya Buweekula North mu Mubende bagiwadde Baleke Kayiira Peter ate Kasambya era mu Mubende ye Ssimbwa Bruhan, Omubaka omukyala owa Rakai agitutte ye Nalubega Grace, Lwemiyaga mu Ssembabule n’eweebwa Ziriddamu Paul.
Ekirindiriddwa kwe kulaba oba abawanguddwa banaawagira abafunye kkaadi y’ekibiina oba baneesimbawo ku lwabwe.