Bya Gladys Nanyombi
Kampala
Poliisi ya Uganda erabudde ku bunkenke obweyongera buli lukya olwa kamyufu k’ekibiina ki NRM akagenda okukubwa ku Lwokutaano lwa wiiki eno.
Poliisi egamba nti mubitundu nga ; Sheema, Ssembabule, Koboko, Kassanda, Kazo, Bundibugyo, Sironko, Mbale , Hoima, koboko, Adjumani, Kashongi, Kampala, Wakiso ne Hoima wasuubirwa okubaayo obuvuyo era nerabula abeesimbyewo ku njuyi zombi.
Okulabula kuno kwakoleddwa omwogezi wa poliisi mu Ggwanga Fred Ennanga bweyabadde ayogerako ne bannamawulire nategeeza nti mu bitundu bino obuvuyo bwatandikirawo ku ntandikwa.

Mu ssaza lya Ssaabasajja erya Mawogala mu disitulikiti ye Ssembabule, abawagizi ba Ssekikubo, aba minisita Joyce Kabatsi, aba Godfrey Aine naba Shartis Musherure Nayebare Mawogola bagifudde ddwaniro nga okusinga obutakkanya buli ku kifo ekipya ekya Mawogola North.
Mu Busiro North mu Wakiso, eyaliko omumyuka ww’omukulembeze w’eggwanga Prof Gilbert Bukenya abawagizi be naba Dennis Ssozi Galabuzi tewali alaba ku munne era nga entabwe ya ani atwala bbendera ya NRM.
Embiranye e Sheema era wakati w’abawagizi ba Minisita Elioda Tumwesigye ne Dickens Kateshumbwa, era nga bano abawagizi babwe beegudde mu malaka emirundi egiwerako era nga buli omu azze alumirizza munne okuleeta obuvuyo mu kulonda.
Mu Munisipaali ye Koboko abawagizi ba Minisita Evelyn Anite naba Dr. Charles Ayuma nabo bakubaganye nga entabwe eva ku ani atwala bbendera y’ekibiina ku kifo ky’omubaka wa Munisipaali eno.
Ebiri e Koboko tebyawukana nabiri Kassanda South, eno abawagizi ba Micheal Muhumiza balumiriza omubaka Simeo Nsubuga okubalumba mukiro nabakuba embooko nga abalanga butamuwagira. Wabula ate nga naba Nsubuga balumiriza Muhumuza okulagira abavubuka nebabakolako efujjo.
Wano Ennanga weyasinzidde nategeeza nga poliisi bweyongedde ku bapoliisi baayo mubitundu bino okulaba nga eyongera okukuuma emirembe wamu n’okuziyiza efujjo mu bitundu bino.
Enanga yanyonyodde nti, “Tetulina kya njawulo kyetugenda kukolayo wabula okulaba nga okulonda kwabwe okwa kamyufu kutambula bulungi nga bwetwasabiddwa.”
Mu disitulikiti ye Kazo nayo embeera ya bunkenke era nga eno abantu 8 bamaze dda okulaga nga bwebagala eky’omubaka omukyala nga muno mulimu ne Minisita Molly Kamukama.
E Hoima eyeegwanyiza okubeera omubaka omukyala Beatrice Wembabazi yakubwa nagenda mu komma era nga kigambibwa nti abamukuba be bawagizi b’omubaka Mugenyi Businge.
Amyuka ssentebe w’ekibiina ki NRM mu ggwanga Al Hajji Moses Kigongo bweyabadde e Ssembabule yalabudde abeesimbyewo okukoma ku bawagizi babwe kubanga bawa ekifananyi ekikyamu eri ekibiina.








