Bya Ssemakula John
Ssembabule
Ssentebe w’ekibiina ki NRM era Pulezidenti w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, alabudde abeesimbyewo mukitundu kye Ssembabule okukomya okuyingizza erinnya lye by’obufuzi naddala nga ab’enganda ze beesimbyewo.
Bino Museveni yabyogeredde Ssembabule ku Lwokuna bweyabadde asisinkanye enjuyi eziri mu kamyufu ke Mawogola North ne Mawogola West akayongezebwayo olw’efujjo n’okulwanagana.
Museveni abakulembeze bano yabategeezezza nti kikyamu okuyingiza erinnya lye mu nsonga zino olw’okuba zirimu ab’enganda ze ate nga ye nga omuntu takiziriimu.
“Temuyingiza linnya lyange Yoweri Kaguta Museveni mu byabufuzi birimu banganda zange. Nze munnakibiina yenna agoberera ssemateeka wa NRM era nga akola ekintu ekituufu naye abeera muganda wange,” Pulezidenti Museveni bweyategeezezza.
Museveni yanyonyodde nti ab’enganda ze abali mu kalulu kano bakagendamu ku lwabwe nga n’olwekyo kibeera kikyamu okuyingizaamu erinnya lye.
Embiranye eri e Mawogola North eri wakati wa muganda wa Museveni, Godfrey Aine Kaguta Sodo ne muwala wa Sam Kuteesa Shartis Kutesa Musherure era akalulu ka bano kayongebwayo oluvanyuma lw’ enjuyi zombi okulwanagana n’abamu nebalumizibwa.
Ono yakkiriza nga bwewaliwo ekizibu mu kibiina eky ’abantu abalina ebifo ebyamanyi mu gavumenti n’ekibiina byebakozesa okuwagira ab’enganda zabwe okuyitawo mu by’obufuzi.
Museveni yategeezezza nti ensonga eno bwagenda okugitwala mu kakiiko akafuzi aka NRM akamanyiddwa nga CEC basobole okugisalira amagezi kubanga eyawula bannakibiina.
Ono yasabye bannakibiina okuddayo ku miramwa gy’ekibiina kwe kyazimbirwa ez’okuweereza abantu so ssi kufuniramu nsimbi.
“ Ensonga enkulu lwaki abantu balwana okugenda mu Palamenti lwakuba ababaka beeyongeza omusaala. Bafuna ssente nyingi okusinga bannasayansi n’abantu abakulu mu ggwnga.
Nagezaako okubalabula ku kino naye tebawuliriza. Kati abantu basuddewo emirimu gyabwe bagende mu Palamenti basobole okufuna ssente enyingi. Abantu mu Palamenti balina kugendayo kuweereza bantu so ssi kugaggawala,” Museveni bweyanyonyodde.
Museveni akizzeemu nga bwagenda okulaba nga omuntu yenna eyakola efujjo awamu n’okubba obululu mu kamyufu ka NRM abonerezebwa.