Bya Ssemakula John
Kampala
Ssaabawandiisi w’ekibiina ki National Resisitance Movement (NRM) Justine Kasule Lumumba, alagidde abakulembeze b’ekibiina abaagala okwesimbawo mu kamyufu okuwaayo wofiisi beewale okubeera nekyekubira.

Bino Lumumba yabitadde bubaka obw’omunda (Internal Memo) bweyawereza abakozi b’ekibiina ku Lwokubiri nategeeza nti yeewunyizza okulaba nga abamu ku bakulembeze babadde bakyalemeddwa okuwaayo wofiisi zebalimu ate nga bakimanyi nti bagenda mu kalulu.
“Nkizudde nga bangi ku bakulembeze okuva ku disitulikiti okutuuka wansi ku byalo baagala kwesimbawo mu kalulu ka 2021 ku mnitendera egy’enjawulo n’abamu bamaze dda okusunsulwa okwetaba mu kamyufu k’ekibiina ”Lumumba bweyagambye.
Lumumba yategeezezzza nti buli lwebabeera bagenda mukalulu abakulembeze abatuula ku bukiiko obwenjawulo balina okuyambako okukunga abantu n’okulaba nga okulonda kwa Kamyufu kutambula bulungi.
Wano weyasinzidde nalabula abo bonna abagenda okwesimbawo mu Kamyufu okuwaayo wofiisi eri abantu abaddirira kiyambe okwewala enkaayana wamu n’okuteekawo obwenkanya.
Lumumba yabalagidde okuwaayo wofiisi n’okulekulira ebifo byabwe bakuteeke mu buwandiike era kkopi y’ebbaluwa bagiwe akulira emirimu gy’ekibiina ku disitulikiti era baweeko nakulira eby’okulonda ku disitulikiti.
Bino webigidde nga ebibiina ebyenjawulo bituula bufoofofo okulaba n’okunoonya abantu bebanasimbawo ku mitendera egy’enjawulo mu kalulu ka bonna aka 2021.








