
Bya Miiro Shafik
Makerere – Kyaddondo
Akalulu akatadde ttiimu z’Amasaza 18 mu bibinja 3 nga buli kibinja kya ttiimu mukaaga kakwatiddwa mu lukuŋŋaana lw’Abakulembeze ba ttiimu z’Amasaza obubadde ku Makerere School of Public Health.
Bino bigenze okubaawo nga ensengeka y’ezannya zonna yawedde dda okubagibwa era emipiira gyakutandika nga 21/06/2025 okutuuka nga 1/11/2025.
Ebibinja bya ttiimu z’Amasaza biyimiridde bwe biti
Bulange; Buddu, Buluuli, Busujju, Gomba, Ssese, Busiro.
Muganzirwaza; Kyaggwe, Kabula, Ssingo, Kooki, Mawogola, Butambala.
Masengere; Buweekula, Mawokota, Kyaddondo, Buvuma, Bulemeezi, Bugerere
Okusinziira ku nsengeka y’ezannya nga bweyabadde ebagiddwa, akalulu kagenze okuggwa nga kalaga nti mu mupiira oguggulawo Buddu ejja kuttunka ne Gomba mu kisaawe Kya Sports Arena Kitovu ku Lwomukaaga nga 21 Ssebaaseka 2025.
