Bya Ssemakula John
Kampala
Poliisi n’amagye biyiiriddwa mu bungi ku nguudo ezigenda okukozesebwa munnakibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu ne Munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), nga bagenda okwewandiisa e Kyambogo.
Ab’ebyokwerinda balabiddwako e Magere, Kisaasi, Nakawa n’emu bitundu bya Kampala nga; Nateete, Kibuye, Najjankumbi, Kamwokya, ewa Kisekka wamu n’ebifo ebirala.
Poliisi yawandiikidde Bobi Wine ng’emulaga amakubo g’alina okukozesa era n’emusaba aganywerereko kimusobozese okutuuka mu budde.
Bano baakakasizza bwe bagenda okuwerekera Kyagulanyi okuva ewaka we okutuuka w’alina okwewandiisiza n’abantu abo abakkiriziddwa akakiiko k’ebyokulonda okumuwerekera.
Bobi Wine agenda kuyita; Magere, Kumbuzi, Kisaasi, Ntinda Stretcher, Spear Motors, ku Masang’anzira ga Kyambogo University okutuuka ku kisaawe ky’e Kyambogo w’agenda okwewandiisiza.
Poliisi ekkakkanya obujagalalo eyiiriddwa mu bungi mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo nga Makindye nga kigambibwa nti eno abawagizi ba People Power babadde baatandise okukung’aana.
Bobi Wine asimbudde e Magere okwolekera e Kyambogo era ng’awerekeddwako mukyala we, Barbie Kyagulanyi wamu ne bannakibiina abalala.