Bya Jesse Lwanga
Mukono
Bannakibiina kya NRM abakutte Bbendera y’ekibiina ku mitendera egy’enjawulo, basisinkanye okutema empenda ku ngeri gye basobola okukolera awamu basobole okuwangula akalulu ka 2021.

Ensisinkano eno, yabadde ku ssomero lya Nyenje Church of Uganda Primary School mu Division y’e Goma mu kibuga Mukono eggulo ku Ssande.
Bano abaakulembeddwamu Dr. Daisy Sarah Sonko akwatidde ekibiina bbendera ku bwammeeya bw’ekibuga Mukono, bagambye nti ku mulundi guno obuwanguzi bubali mu ttaano.
Alina bbendera y’obukiise bw’ekibuga Mukono, Abas Ssozi, yalaze nti waakufuba okutereeza ebyobulamu n’okuleeta amasannyalaze mu bitundu gye gatali.
Ssentebe wa NRM mu disitulikiti eno, Hajji Twahiri Ssebaggala, yategeezezza nti ekikuumidde Mukono emabega kwe kuba ng’abantu balonda abakulembeze abakyamu.
Ono era yasabye banna NRM okukomya enkwe era wamu n’okulowooza okuwagira Kagimu owa DP nga baagala okuggyawo Omubaka Nambooze, nti ekyo kikyamu era n’abasaba okuwagira abantu ekibiina be kireese.
Ssaabakunzi w’ekibiina kya NRM mu ggwanga, Mathias Kasamba, nga ye yabadde omugenyi omukulu ku mukolo guno, yasabye bannakibiina abeesimbyewo ku lwabwe okuva mu kalulu balekere bannaabwe abaakwata bbendera z’ekibiina.
Kasamba yasekeredde bannakibiina kya NRM mu kibuga Mukono olw’okufugibwa oludda oluvuganya abakotogedde enkulaakulana ya bannamukono olw’okuba tebatuuka gye bagabanyiza mugaati.