
Musasi waffe
Akakiiko k’ebyokulonda katandise okuzza obuggya enkalala z’abalonzi mukaweefube w’okwetegekera okulonda kwa 2021. Ng’ayogerako ne bannamawulire ku kitebe ky’akakiiko mu Kampala, Ssentebe w’akakiiko kano Simon Byabakama yategeezezza nti okwewandiisa kugenda kubeera ku miluka gyonna okwetoolola eggwanga okuva nga Musenene 21 okutuuka nga Ntenvu 11, 2019. Mu ntekateeka eno, akakiiko ka kuwandiisa abalonzi abapya, okukyusakyusa mubifo abantu webaagala okulondera, wamu n’okukebera oba ebiri kunkalala bituufu. Akakiiko era kakuwandiisa abaana b’amasomero abaafuna endagamuntu kyokka kati nga bawezezza emyaka 18 egikirizibwa okulonderako.Byabakama yategeezezza nti Uganda kati erina abalonzi 16,435,315 wabula nga bano bakweyongera oluvanyuma lw’okwewandiisa kuno. “Akakiiko k’ebyokulonda kakubiriza abantu bwonna okuwagira emirimu gyako nga beetaba mubuli nsonga zonna ezikwata kuby’okulonda nga mugoberera amateeka,” Byabakama bweyagambye. Yayongeddeko nti tebagenda kwongerayo nnaku z’akwewandiisa nti era oyo yenna ayagala okwenyigira mukulonda kwa 2021 ng’omulonzi oba eyeesimbyewo, alina okwewandiisa. “Bannayuganda muteekeddwa okwejjamu omuze gw’okwagala okukola ebintu mukiseera ekisembayo. Mujjumbire enteekateeka y’akakiiko okusobola okubeera n’okulonda okulungi,” Byabakama bweyagambye.