Bya Ssemakula John
Kampala
Akakiiko k’ebyokulonda kasabye omulamuzi agobe omusango Fred Nyanzi gwe yatwala mu kkooti enkulu ng’awakanya okulondebwa kwa Muhammad Nsereko nga tegunnawulirwa, kuba teguliimu makulu nga Nsereko teyaweebwa bbaluwa eraga nti baamuwaabira.
Nyanzi nga ye mukulu wa Robert Kyagulanyi Ssentamu yaddukira mu kkooti ng’awakanya ebyalangirirwa mu kalulu ka nga January 14 ng’agamba nti Nsereko yabba akalulu era n’awaabira akakiiko k’ebyokulonda awamu n’eyakuliramu okulondesa.
Ku Mmande, omusango guno guzzeemu okuwulirwa era bannamateeka basatu nga bakulembeddwa Robert Bautu, Bernard Mutyaba ne Saudah Nsereko, bategeezezza kkooti nti ku Lwokutaano Muhammad Nsereko yabawa ebiragiro okubaawo mu kkooti naye ne balemerako nti tebalina musango gwonna gwe bamanyi gwawaabirwa muntu waabwe.
“Nalagiddwa okulabikako mu maaso go Owek. Omulamuzi naye tetufunangako bbaluwa yonna eraga nti omuntu waffe baamuwaabira. Tuzze wano olw’okuba erinnya ly’omuntu waffe lyayogeddwako mu musango guno ate nga tagumanyiiko, tuzze kulaba bigenda mu maaso.” Bautu bw’agambye.
Bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda nga bakulembeddwa Eric Sabiiti, basabye kkooti egobe omusango guno kuba gwakubamalira biseera.
“Omusango tegusobola kugenda mu maaso nga Nsereko taguliimu. Nsereko ye yawangula. Noolwekyo omusango tegusobola kugenda mu maaso nga eyawangulwa akalulu kano taliiwo.” Sabiiti bw’agambye.
Omulamuzi Margaret Apiny asabye bannamateeka okuteeka ensonga zaabwe mu buwandiike baziweeyo nga tannasalawo ku nsonga eno.
Kinajjukirwa nti Fred Nyanzi Ssentamu yaddukira mu kkooti ng’agamba nti akakiiko k’ebyokulonda ne Nsereko beekobaana ne bamunyagako obuwanguzi bwe mu kulonda kwa January 14.
Okusinziira ku Nsereko, ebifo ebironderwamu ebiwera 50 byonna byakolebwamu ensobi ezaalema akakiiko k’ebyokulonda okunnyonnyola, ekintu ekikontana n’amateeka g’ebyokulonda.
“Abakuliramu okulondesa awamu n’abantu abaali balondesa baawaayo ebintu ebikyamu mu bugenderevu mu kiwandiiko ekyali kiraga ebivudde mu kulonda era kino ne kikosa ebyava mu kalulu ebyalangirirwa.” Nyanzi bw’ategeezezza.