Bya Ssemakula John
Entebbe
Akakiiko k’ekibiina kya National Resistance Movementi (NRM) akaasisinkanye eggulo ku Mmande baalemeddwa okusalawo ku ani gwe baba baleeta ku bwasipiika bwa Palamenti y’e 11. Kyabadde kisuubirwa nti akakiiko kano ak’okuntikko kaabadde kasuubirwa okusalawo eggoye wakati wa Sipiika aliko Rebecca Kadaga n’omumyuka we, Jacob Oulanyah ku alina okutwala entebe eno.
Ensonda ezaabadde mu nsisinkano y’akakiiko ka CEC akaatudde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe, zaategeezezza nti we zaaweredde essaawa ssatu ez’ekiro eggulo nga Rebecca Kadage ne Oulanyah buli omu agaanye okukkiriza.
Oulanyah yategeezezza abakulu bano nti bakkaanya ne Kadaga amulekere obwasipiika mu kisanja ekiwedde olwo ye Oulanyah alinde ekisanja kino ekya 2021.
“Kadaga yalemeddeko ng’agamba nti abakulu tebasobola kusalawo nga basinziira ku bigambo bya Oulanyah kuba tebiriiko bujulizi.” Ensonda ezaabadde mu lukiiko bwe zaategeezezza.
Oluvannyuma lw’abeegwanyiza ekifo kino buli omu okulemerako, Pulezidenti Museveni era ssentebe wa NRM yalabye ensonga egaanye okugguka n’asuubiza okuddamu okuyita akakiiko kano kateese ku nsonga eno. “Mulemeddwa okukkaanya. Ndowooza tujja kuddamu tusisinkane.” Museveni bwe yagambye.
Omulala ku baabadde mu lukiiko luno ataayagadde mwasanguza linnya naye yakkiriza nti kituufu baatudde naye tebalina kya ssimba kyasaliddwawo ku kifo kya Sipiika n’abo abalina okukivuganyaako.
Bino we bijjidde ng’akakiiiko kano aka CEC kasabye abo bonna abaagala okuvuganya ku kifo kya Sipiika n’omumyuka we okuteekayo okusaba kwabwe basobole okusunsulwamu.
Oluvannyuma lw’okusunsulwamu kuno, akabondo k’ekibiina kya NRM kajja kutuula ku Lwomukaaga ku kisaawe e Kololo okulaba abanaakwatira ekibiina bbendera ku bwasipiika mu kulonda okunaabaawo ku Mmande nga May 24.