
Bya Musasi waffe
Akakiiko akaateekebwawo omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, kamalirizza emirimu egyakakwasibwa egy’okunonyereza ku vvulugu ali mu kitongole ky’ettaka. Akakiiko kano akabadde kakulirwa omulamuzi wa kkooti ejulirwamu, Catherine Bamugemereire kamaze emyezi 30 mukunonyereza kuno. Mubyekakoze mubbanga lyekamaze mubaddemu, okutaasa ssente z’eggwanga eziwera akatabalika kamu [trillion] okuva mukwemulugunya 7767, obubbi bw’ettaka, obuli bwenguzi oba obukuluppya obwenjawulo. Akakiiko era kategezezza nti kasobodde okutaasa ssente nyingi ddala oluvanyuma lw’okusazaamu ebyapa 160. Akakiiko kano alipoota yaako yakwasibwa Museveni era ekirindiddwa kwekulaba kiki kyagenda okugikolera.