Bya Ssemakula John
Kampala
Kkampuni y’essimu eya Airtel- Uganda, etandise enteekateeka ya ‘Franchise Partner Development,’ okubangulamu bannayuganda ku ngeri gye basobola okutondawo emirimu wamu n’okuyimirizaawo bbizineesi zaabwe.
Enteekateeka eno yayanjuddwa Akulira entambuza ya bbizineesi mu Airtel, Joseph Musoke, bwe yabadde ku kutongoza okubangula kuno e Hoima, n’alaga nti bamalirivu nga Airtel okukwasizaako be bakolagana nabo okulaba nti bafune mu mulimu guno.
Ate ye Akulira eby’obusuubuzi mu Airtel, Amit Kapur, agamba nti enkola eno bwe bagigattako okuwa abantu obukodyo mu bibzineesi, ebintu bigenda kutambula bulungi, bakwongera ku busobozi bwabwe ng’abantu basobole okukola amagoba agawerako.
Kapur yakakasizza nti enteekateeka eno ejja kutondawo emirimu eri bajenti wamu n’ebifo ebitunda layini z’essimu era baakufuna obukugu ku nkozesa ya ssente zaabwe, obukugu obusookerwako okutambuza bibzineesi wamu n’okusasulamu omusolo.
“Obukugu buno bwe bunaabaweebwa, bajja kufuuka bakugu era ebintu byabwe babikole mu budde olwo basobole okwongera okugobolola mu biizineesi zaabwe.” Kapur bwe yagambye.