Bya Musasi waffe
Kampuni y’amasimu eya Airtel ezzizza buggya, endagaano gyeyakola n’obwakabaka bwa Buganda okuvujjirira emisnde gy’amazaalibwa ga Kabaka. Endagaano eno esiddwako omukono mu Bulange Mmengo wakati wa ssenkulu wa Airtel V.G Somasekhar n’omukungu Ronald Kawaddwa kulwa Majestic Brands, ekitongole ky’Obwakabaka ekikola kukwasaganya bannamikago. Mububakabwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga yasiimye nnyo aba Airtel beyayogeddeko nti bakolaganika nabo. “Bannaffe aba Airtel nze bansanyusa nnyo kubanga baatwesiga okuva muntandikwa nga abalala balowooza tuli mubyakubalaata. Kati emyaka mukaaga ng’emisinde gya Kabaka gikwata kifo kyakutaano mu Africa ate kifo kya 17 munsi yonna. Tugenda kugifuula namba emu mu Africa kuba kati endagaano tugizzizza buggya,” Mayiga bweyategeezezza. Yagasseeko nti aba Airtel kumulundi guno nga Kabaka bweyalagira, essira bagenda kulissa kukulwanyisa siriimu mu Buganda ne Uganda, n’abasiima okufaayo kubiruma omuntu wabulijjo. “Tubeebaza kubanga amaaso gaabwe tegali kumagoba gwokka naye bafaayo nekubintu ebigasa omuntu wabulijjo,” Mayiga bweyagambye. Owomumbuga era yagambye nti yeewunya nnyo bassenkulu abamakampuni agamu abatanakitegeera nti bwoba oyagala okutuuka akatale gyekali, olina kuyita mu Majestic Brands kubanga lwerutindo olukutuusaayo. Yasiimye nnyo aba Majestic Brands beyayogeddeko nti mumyaka emitono ennyo gyebamaze, bakoze ebirabikako. Yabakuutidde okutuukiriza endaaagano gyebataddeko emikono mubwesigwa no’bwerufu kubanga kubbyo, emikago kwegitambulira.